Jump to content

Omusujja gw'ensiri

Bisangiddwa ku Wikipedia
obusirikitu obureta omusujja gwe nsiri, nga bulumbagana obutafari bwomusayi gwo muntu.
ENSIRI

Omusujja gw'ensiri guluma abantu n’ebisolo ebimu, era nga gusasanyizibwa nsiri. Omusujja guno guleetawo obubonero obw’enjawulo ku muntu aba agulwadde, okugeza; okwokyerera, okutintima, obukowu, okusesema n’okulumwa omutwe. Obubonero obwo, buteera okubaawo mu nnaku kkumi ku kkuminnataano oluvannyuma lw’omuntu okulumibwa ensiri erina akawuka k’omusujja. Omuntu yenna eyali alwadde ku musujja gw’ensiri bw’addamu n’agulwala obubonero bw’afuna buba busaamusaamu ku buli obw’asooka.[1]

Ebiseera ebisinga omusujja guno gusasanyizibwa ensiri eyitibwa Anopheles. Ensiri eno bw’ekuluma ekussaamu obusagwa mu musaayi obuva mu malusu g’ensiri, awo obuwuka ne butambula mu mubiri ne bugenda ku kibumba gye buzaalira. Ebiseera ebisinga omusujja gw’ensiri gukeberebwa na bitangaaza musaayi okugeza nga blood films, oba antigen.

Ebimu ku bikolebwa okwaŋŋanga obulwadde buno okusobola okwewala okulumwa ensiri, mulimu: okukozesa obutimba bw’ensiiri ne dduumu, oba okukola ebiziyiza okubaawo kw’ensiri mu kifo okugeza nga, okufuuyira ebiwuka, okuggyawo amazzi agalegamye n’okusaawa ensiko eba yeetoolodde abantu we babeera. Waliwo obujjanjabi obw’enjawulo okuziyiza omusujja gw’ensiri, okugeza abato omusawo abalagira okumira sulfadoxine/pyrimethamine so nga ate obujjanjabi bw’omusujja obusinga okulagirwa mulimu; antimalarial medications nga artemisinin. Omuntu era asobola okwejjanjabisa mefloquine, lumefantrine oba sulfadoxine/pyrimethamine. Quinine ne doxycycline bisobola okozesebwa singa “artemisinin” aba taliiwo.

Obulwadde bw’omusajja businga kusasanyizibwa mu bintundu eby’etoolodwa equator olw’ebibiira ebibaamu ebiwuka eby’enjawulo okugeza nga mu Sub-Saharan Africa, Asia, ne mu Latin America. Ekitongole ekivunaayizibwa ku by’obulamu mu nsi yonna (WHO) kiteebereza, nti mu mwaka gwa 2012, abantu abawera obukadde 207 be baali balwadde Omusujja gw’ensiiri. Bwe kityo ekirwadde kino kyateeberezebwa okuba nga kyatta abantu abali wakati wa 473,000 ne 789,000, nga n’abasinga baali baana mu Afirika.

References

[kyusa | edit source]
  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:WikiProject_Medicine/Translation_task_force/RTT/Simple_Malaria