Mujje Tutendereze Omukama
Mujje Tutendereze Omukama
Mujje Tutendereze Omukama
NIHIL OBSTAT
IMPRIMATUR
1
2
NIHIL OBSTAT
IMPRIMATUR
3
ENNYANJULA
“Muyimbire Omukama Oluyimba oluggya”
Ffe nga eggwanga eppya Omukama lye yerondera Okulangirira Obutuukirivu bwe, eyatuggya
mu Kizikiza n’atussa mu Kitangaala kye (I Petro 2:9) tuteekwa kuyimba luyimba luggya kubanga
ne by’atukoledde nabyo bipya. Ennyimba eziri mu Katabo kano empya n’enkadde zijja
kutuyamba okutendereza ebikuuno by’Omukama mu ngeri empya, twatule ebyo bye tukkiriza,
n’entendereza yaffe zigifuule ey'ekitiibwa, ey’essanyu esaanira Omutonzi wa byonna.
Ekitusabibwa kwe kuyiga ennyimba zino n’obwegendereza tulyoke tusaakaanyize wamu mu
ntendereza zaffe. Jjukira ne Agustino Omutuukirivu ky’agamba nti “Ayimba aba asomye
emirundi ebiri” Mujje nno tutendereze Omukama kubanga ekisa kye kya Mirembe gyonna.
Olukiiko olugatta amasaza gaffe asatu: Masaka, Kiyinda ne Kampala, olwakwasibwa omulimu
ogw’okukwanya ebyentendereza mu masaza ago asatu okulaba nga bigendera wamu luzzeemu
okwekenneenya Akatabo kaffe ak’ennyimba era ne luddamu okutereeza ennyimba zongere
okutuukana n’embeera gye tulimu kati. Ennyimba ezibunye wonna zisigaddemu, n’empya ne
zongerwamu kisobozese okufuna ennyimba ze twetaaga.
Akatabo kano ak’awamu gwe mulimo oguvudde mu bayiiya aba buli ngeri era ekyokulabirako
kye tuteekwa okugoberera buli muyiiya nga agendera wamu ne banne ate byonna babikolera
wamu n’abo abassibwawo Eklezia okusunsula n’okwekenneenya nnyimba ki ezisaanidde
okubeera ku ntujjo zaazo anti ebikolwa ebyawufu byagala okuyimba okwawufu: (ez’embaga,
tezifaanana za lumbe, bwe kityo n’ez’omu ntendereza njawufu nnyo). Twongere okugondera
abo abatuyambako okulunngamya ennyimba zino.
4
1. ABASOMI, MUJJE TUSOME MMWE
(Fr. Joseph Nnamukangula)
5
2. EGGWANGA LYA KATONDA
(Mr. Kamya)
6
5. Abazira omusaayi baaguyiwa
Ne guletera Uganda obulokofu,
Twasooka bulungi tulina amaka,
Omutuviira bannaddiini abaliwo kati,
N‟atuwa bakabona abamufaanana
Bakulembere eggwanga ly‟abatambuze.
3. EMBUGA ZO NNUNGI
(Joseph Lukyamuzi)
7
3. Ka nngende ku Altari y‟Omukama, Kawamigero oyo eyatutonda, Mujje
tumutende Katonda Kitaffe tumwebaze.
BASS SOPRANO
8
1. Tuzze wuwo olwaleero - Tusinze wamu ffe b‟olunda ab‟enda emu. Mu Kiggwa kyo
Mukama owaffe - Taata tukkirize
Tutuuke awo ku mwaliiro.
6. KATONDA EYATUTONDA
(Fr. Expedito Magembe)
9
7. KATONDA OW’EKISA
(Fr. James Kabuye)
10
8. KINO KIKI?
(Fr.Vincent Bakkabulindi)
11
2. Ekibiina kijaguza, anti Kristu ali naffe,
Ffe ggwanga erisoma, ffe Kristu aweereza Patri,
Ekitambiro eky‟olubeerera.
Mujje b‟amanyi ntujjo, ensi n‟eggulu yimba
Mujje b‟amanyi ntujjo, ensi n‟eggulu sinza.
12
b) Tukwekola nnyo Mukama waffe.... Yee Ddunda
Kagingo Oli wa kitiibwa tunaakutenda
Tukwesiga nnyo Mukama waffe.. Yee Ddunda
Kagingo Oli wa kitiibwa tunaakutenda.
13
b) Tukwagala nnyo Mwoyo atuyamba Yee Ddunda,
Osaana Oli wa kitiibwa tunaakutenda Tukwesiga nnyo
Nnabasatwe Ggwe Yee Ddunda
Katonda Oli wa kitiibwa tunaakutenda
14
1. Tugenda n‟essanyu lingi ewa Kitaffe gy‟abeera
Mu maaso ge tufuna eddembe, mu maaso ge ffe tunaatya ki? Tuutuno Kitaffe,
b‟olunda, tukuwa ekitiibwa n‟ettendo
Olw‟obukulu bwo.
15
14. MUJJE TUSOME
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Mujje mujje tusome,
Abaana ba Katonda b’alonze,
Mmwe ggwanga lye, mmwe Kristu alabika x2
Mujje muyingire mu Kiggwa kye, tumusinze,
Tumwebaze Nnyinimu, tumusinze, tumwebaze nnyinimu.
16
15. MUSIMBE ENNYIRIRI TUYISE EKIVVULU
(Fr. James Kabuye)
17
6. Muyimbe abasoma, mulabe bwe mutyo, essanyu ly‟abaganza Katonda –
Amiina. x2
Mujje mulage nga bwe mumanyi nga bulituuka (ABALONDEMU)
Mu ssanyu wamu ne tujaganya emirembe gyonna (BANNAMUKISA)
Mwanguwe, mwanguwe, mujje tugende gy‟ali Katonda. X2
18
17. NDI MU SSANYU LINGI
(Fr. James Kabuye)
19
19. NGA NNUNGI NGA NNUNGI
(Fr. James Kabuye)
20
21. OMUTIMA GWANGE
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
21
22. TUZZE GY’OLI BE WATONDA
(Joseph Kyagambiddwa)
22
2. Ayi Ggwe ggwanga lya Ddunda, Ggwe Eklezia,
Oligaziwa wamma n‟oyitirira, ng‟ofuna ekitiibwa,
Eky‟obuzadde bonna bonna nga bagobye;
OKUGULUMIZA OMUKAMA DDUNDA.
Nga baleeta ne zawabu ow‟okutonebwa
OKUGULUMIZA OMUKAMA DDUNDA.
Nga bayimba n‟ennyimba ez‟okujaganya,
Bonna anti baana bo ggwe Nnyaabwe gwe bamanyi.
23
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐎𝐊𝐖𝐄𝐁𝐔𝐔𝐋𝐈𝐑𝐈𝐑𝐀
Ekidd.: I
Ba mukisa .......... Beesuneko baliwanngama.
Ekidd: II
Yee, ba mukisa nnyo Omukama alibateeka ku mukono gwe ogwa ddyo.
24
25. ATENDEREZEBWE KATONDA
(Fr. James Kabuye)
Bass:
a) Tuli baana be ffenna oyo Kristu be yalondamu ...
Tuli baana be, tweyanze Taata ...
Ddala ffenna tuli baana be.
25
b) Tuli basika ffenna oyo Kristu y‟atukulira ...
Tuli baana be ; tweyanze Taata ...
Ddala ddala ffenna tuli baana be.
26
2. Amatu agago gawulirize leero,
Eddoboozi ery‟okuwanjaga kwange.
27
3. Ggwe wekka Ggwe nnakola ekibi nze,
Ekiba ekibi mu maaso go kye nnakola;
Ky‟ova obeerera ddala omutuufu ng‟osala omusango,
Mutereevu mu nnamula yo.
28
2. Golola omukono gwo, bonna ab‟amawanga bategeere, Obuyinza bwo, nga bwe
wayoleka,
Obutuukirivu mu maaso gaabwe ng‟otubonereza,
Yoleka ekitiibwa kyo kati mu maaso gaabwe,
Ng‟obonereza, abatutuntuza.
Soprano
2. Beesiimye nnyo abaagala Yezu okukyayibwa olwa Kristu Katonda b‟alinda
waggulu ewuwe.
Soprano Bass
Beesiimye nnyo n‟abakaaba - Bannamukisa x2
Mbeera amaziga agatonnya kati - Bannamukisa x2
Mukama aligasangula lulikya - Bannamukisa x2
29
Soprano
Nneeyagalira Kabaka omu: Katonda eyantonda n’ampa n’ebibye x2
Ka tunywere ffe abamukkiriza
Tutti: Nneeyagalira Kabaka omu Katonda eyantonda n’ampa n’ebibye.
30
33. OKWAGALA KUKIRA BYONNA
(Fr. Gerald Mukwaya)
31
35. EWUWO GYE NSITULIRA OMWOYO
GWANGE
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.:
a. Mu Bwamatuuka: Omukama Katonda alidda okutulamula,
Mujje tumusinze ffenna!
b. Mu Bwamazaalibwa: Omwana Kristu azaaliddwa,
Mujje tumusinze Lugaba!
c. Mu Bwameeyoleka: Omukama atweyolese mu Kristu
Omwana we,
Mujje tumusinze ffenna.
d. Mu Bwekisiibo: Omukama atusaasira mu Kristu Omulokozi,
Mujje tumusinze ffenna.
e. Mu Bwamazuukira: Alleluia, Alleluia,
Kristu Azuukidde.
f. Obwomwaka: Omukama Katonda Ddunda eyatutonda,
Mujje tumusinze ffenna.
32
1. Y‟ani oyo atamanyi Katonda, y‟ani oyo asaasirwe!
Anti mu Katonda mw‟obeera mw‟okulira,
Mu Katonda mw‟otambulira,
Buli lukya, buli lukya Nnamugereka y‟abukeesa.
33
2. Yezu Kristu atwagala,
Bwe tusobya atulinze atusonyiwe - Katonda nga yayinga okwagala ensi.
Atutegekera bulijjo embaga ye,
Tufune Omubiri n‟Omusaayi gwe - Katonda nga yayinga okwagala ensi.
4. Oyagala otya ggwe Katonda wo n‟ogaya ebyo bye yagamba? Nedda agamba
bw‟atyo owubwa,
Ayagala Katonda, akkiriza, atuusa byonna.
34
39. KATONDA YEEBALE
(Fr. Gerald Mukwaya)
Ekidd.: Katonda yeebale, yeebale nnyo
Katonda yeebale, yeebale
Nja kumwebazanga emirembe gyonna,
Nja kumwebazanga buteddiza.
35
40. KITAFFE BY’OKOLA BYONNA
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Kitaffe by’okola byonna, birungi by’okoze mu ffe,
Birungi by’okola byonna ku nsi,
Osaanira kutendwa ffe abantu b’oganza bw’otyo,
Osaanira kutendwa Ggwe Nnamugereka.
Ka tumwebaze ku lwa leero.
36
Nnagobereranga ebyo bye nnayita ebisanyusa
Nnakwatanga makyamu amakubo nnawaba nnyo.
2. Naye kati olw‟okubeera Yezu ebyo bye nnayita amagoba ebinyuma ebigasa
37
Bass: Wabula ndayira era mmalirira ne nngamba
Nti ebyedda ebyo - Nnabivaako nti ebyedda ebyo tebinnuma.
Ebyo ebyayita - nnabimala nti ebyo ebyayita nnabibuuka.
Kristu Omununuzi - yabimalawo oyo eyannganza era talinjuza
Nze nduubirira bino - ebirijja embiro njagala nzituuse nga bw‟agamba.
Ye alyoke ampeere - oyo Omutonzi empeera eyo ye gye yanngamba.
Ngifune mu Yezu - oyo Omununuzi oyo eyannganza era talinjuza.
38
43. MMWE AMAWANGA GONNA
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Mmwe amawanga gonna musaanye mweddemu,
Mutende mwenna Omukama
Amawanga gonna mukube mu ngalo,
Mwesiimye mmwe b’alyoye.
39
1. Beera musomi atakyukakyuka mu ddiini yo entuufu
Beera musomi atuusa eddiini yo,
Omulamu, (omulamu) mu Katonda,
Omutume, (omutume), ayigiriza abalala,
Eyenyigira mu mirimu gyonna egy‟Eklezia etinta.
40
4. TULYEWUUNYA NE TWEBUUZA NTI
Twakulaba ddi ne tukuyamba?
OMUKAMA ALIDDAMU:
Buli ky‟okolera omu ku baliwo
Buli ky‟okolera banno b‟olina
Buli ky‟okolera abo oba okikoledde nze.
41
47. MULI KITANGAALA
(Fr. James Kabuye)
1. Muli kitangaala eky‟ensi
Muli ttawaaza ey‟amazima
Mwakirenga ensi yonna
Emanye Katonda n‟obukulu bwe.
42
49. NFUULA OMUKUTU OGW’EDDEMBE
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Nfuula omukutu ogw’eddembe x3
Mukutu... ogw’eddembe mukutu
Ogw’eddembe, ayi Mukama, buli wantu,
Ntuuseeyo okwagala kwo.
I II
1. Neegomba okubeera mu nju yo
Mu Kiggwa kyo Ekitukuvu - Nnaakugulumiza
Mu Weema eyo Entukuvu
Mw‟osangwa ayi Katonda - Kubanga oli mulungi, era
oli wa kisa!
43
2. Naye ndi munafu, Ayi Mukama, ndi munafu - Nnaakugulumiza
Obutakola ky‟onjagaza buli budde! - Kubanga oli mulungi,
era oli wa kisa!
44
52. NNAAGULUMIZANGA OMUKAMA
(Fr. Kizito Mayanja)
3. Erinnya lyo kkulu, lya ttendo Mukama wange, - Nja kumwagala Kye nkutendako,
wabikuuma ebisuubizo! - Nnaamuyimbiranga
ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange.
5. Bwe baliwulira ebigambo byo, Ayi Mukama - Nja kumwagala Bakabaka b‟ensi
eno bonna balikugulumiza. - Nnaamuyimbiranga
ennyimba okumwebaza oyo Omutonzi wange.
45
2. Mugulumize wamu nange Omukama:
Tusukkulumize wamu erinnya lye eryo.
Nnanoonya Omukama, era n‟anziramu,
Ye yamponya byonna bye nnali ntya nze.
46
4. Nzuuno nno obulamu bwange mbuzza wuwo,
Mu kisa kyo Ggwe wantonda, nneewa Ggwe leero,
Ggwe Nnantalemwa gwe nsinza, Mukama wange,
Nzuuno nsenza mbe naawe.
5. a) Ombeereranga kikubagizo;
(Tutti): Ttaala ey‟okumulisa mu makubo gange;
47
4. Mmwe ensi zonna musaakaanye n‟essanyu,
Mukube emizira kubanga alamuza ddembe na buyinza.
Nga kirungi kya magero, nga kirungi kya magero,
N‟obuyinza bwe busukkirivu.
48
58. SI BULI AGAMBA “MUKAMA”
(Fr. Expedito Magembe)
MUKAMA ALIBAGAMBA
49
59. TANSAANIRA
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
I II
1. Nkoowoola ensi zonna: Katonda ky‟akoze
Muyimbire Omukama oluyimba oluggya Katonda wa kisa.
Anti wa kitiibwa mu nsi. Katonda w‟Amagye!
50
4. Ensi eno ekankane, etegeere. Katonda ky‟akoze!
Ono omu Omukama ayolese ekitiibwa N‟obuyinza bwe!
Anti y‟alamula byonna. N‟obulungi bwe!
51
10. Guno gwe mulyango gw‟Omukama,
Abatuufu be baliguyitamu okuyingira.
52
4. Obutuufu bwo alibuggyayo ng‟ekitangaala
Obwannannyini obubwo alibuggyayo ng‟ettuntu!
53
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙′𝐄𝐁𝐈𝐓𝐎𝐍𝐄
65. ABAKRISTU, DDUNDA TUMUWE
(Fr. James Kabuye)
54
67. AMAKULA GO TULEETA
(Fr. James Kabuye)
55
69. AYI MUKAMA KATONDA WAFFE
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Ayi Mukama Katonda waffe, twegasse ne Nnyaffe Maria
Tukuweereza ebitone byo bino, n’omwoyo ogumenyese.
N’ekisa wulira essaala za Yezu.
56
3. Mazima engalo ensa ziwoomera nnyini zo,
Mikwano gye nnina eri nze
Tiwali agirabirira okuggyako Ggwe
Ddunda nkusiime ntya! Oh!
57
72. DDUNDA OYO KATONDA
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
58
4. Tuzze gy‟oli Kitaffe Ggwe atubumba,
Ffenna abaavu nno lunkupe.
Tuzze twesiga, Ssebo, okuyambwa
Byonna siima, Ssebo otuwe bye twetaaga.
59
5. Yongera abakozi 6. Tusaba kino ffenna
Mu mulimo gwo guno Nga butuuse obw‟okufa
Ebitambiro byale Otutwale mu ggulu
N‟eddiini etinte. Gy‟oli twesiime.
Bass Soprano
Tutwalire Omukama Anaabisiima ka tutwale
Tumuwe Omukama Anaabisiima ka tumuwe
Tutonere oyo Taata Anaabisiima ka tutone
Tugemulire Omukama Anaabisiima ka tugemule
Tuddize Omukama Anaabisiima ka tumuddize
Ku ebyo by’atuwa bulijjo.
60
77. ENGALO ENSA
(Fr. James Kabuye)
1. Engalo ensa, engalo ensa ziwoomera nnyini zo, ataddize Ddunda obadde ki?
Anti ekitiibwa ky‟abasoma, kwe kugabira Lugaba ow‟ettendo ku bintu by‟awadde.
Kiki ekisaanidde okumuwa?
Kiki ekisaanidde mu maaso go Ddunda?
Nneeyanze nange okuyitibwa, okukuddiza Ddunda Lugaba.
Twala, Ssebo twala, twala Ddunda amakula go. x2
2. Engalo ensa, engalo ensa ziwoomera nnyini zo, ataddize Ddunda obadde ki?
Anti ekitiibwa ky‟abasoma, kwe kusaanira ogabire ow‟ettendo Mugabi wa byonna.
Kiki ekisaanidde okumuwa?
Kiki ekisaanidde mu maaso go Ddunda?
Nneeyanze nange okuyitibwa, okukuddiza Ddunda Lugaba.
Twala, Ssebo twala, twala Ddunda amakula go. x2
3. Engalo ensa, engalo ensa ziwoomera nnyini zo, weebaze Ddunda by‟akuwa
Anti okugabira nnyini byo, kwe kulaga bw‟omumanyi bw‟osiima Katonda
gw‟oddizza.
Kiki ekisaanidde okumuwa?
Kiki ekisaanidde mu maaso go Ddunda?
Nneyanze nange okuyitibwa, okukuddiza Ddunda Lugaba.
Twala, Ssebo twala, twala Ddunda amakula go. x2
61
78. KATONDA LUGABA OGULUMIZIBWE
(Fr. James Kabuye)
62
79. LABA EBIRABO BYAFFE BINO
(Joseph Lukyamuzi)
Ekidd.: Laba laba ebirabo byaffe bino
Omugaati n’evviini ebivudde mu ffe
Abaana bo, tubikutonera Taata bitwale
Wamma Mukama ebivudde mu ntuuyo z’abaana bo
Ggwe atalundira mpeera
Bye tukuweereza biibyo bitwale.
63
2. Ddunda ng‟ogaba, Ggwe ng‟osaasira
Oyagala abatonde - ffe abaana bo,
Ggwe bingi by‟otuwa, tojuza na muntu
Ffe bwe tusaba, Taata owulira Ggwe.
3. Wa abantu bo, ffenna ekyokulya,
Ng‟owonya n‟abalwadde, ng‟osaasira,
Tuyambe, toleka bantu bo tuwoobe,
Ggwe tuwulire, yamba Ssebo yamba.
4. Wa abantu bo, ffenna amaanyi go
Ffe abanafu ku bwaffe - ffe abaddu bo,
Kitaffe by‟otugamba ebyo tutuuse
Tukuwulire, ffe nga twesiga Ggwe.
5. Ggwe ng‟owa ababo, byonna by‟obawa,
Ng‟ogabira abatonde - ebitone byo,
Byonna Ggwe by‟obawa, bo olwo balyoke babyeyambise
Bo bakuweereze Ggwe.
64
82. MUSITUKE, TUWEEREZE EBIRABO
(Fr. Joseph Namukangula)
Ekidd.: Musituke, tuweereze ebirabo Omukama Musituke
Ffe tuweereze ebirabo Omukama,
Musituke Tuweereze
Musituke Tuweereze
Tuweereze
Bonna: Tuweereze ebirabo Omukama, abisiime.
65
6. Eklezia wo, Taata yamba;
Omuyiweko enneema nfaafa,
Ng‟omutukuza, ng‟omwongera amaanyi,
Ng‟omuliisa ng‟omwongera ettendo,
Ggwe muyambe.
Mujje tubitwale ,, ,,
Tubitwale gy‟ali ,, ,,
Omukama abisiime ,, ,,
Ebivudde mu ffe ,, ,, x2
Mujje tubitwale ,, ,,
Tubitwale gy‟ali ,, ,,
Omukama abisiime ,, ,,
Ebivudde mu ffe ,, ,, x2
66
Alyoke asiime ekirabo ky‟owa ,, ,,
Ekimusanyusa era ekiwooma
Mujje tubitwale ,, ,,
Tubitwale gy‟ali ,, ,,
Omukama abisiime ,, ,,
Ebivudde mu ffe. ,, ,, x2
67
9. N‟obuyinza bwo byonna bifuge, tukwebaza nnyo Katonda waffe ........
10. N‟ebimera byonna bikuze, tukwebaza nnyo Katonda waffe .........
11. N‟ebirime byonna bibaze, tukwebaza nnyo Katonda waffe ........
12. N‟omusana nagwo gutuwe, tukwebaza nnyo Katonda waffe ........
13. N‟enkuba yo nayo gituwe, tukwebaza nnyo Katonda waffe ........
14. Nnannyinimu ffenna tulabe, tukwesiga nnyo Katonda waffe .........
15. Wa ekyokulya bonna abanaku, tukwesiga nnyo Katonda waffe ........
16. Ne bamuzibe bawe okulaba, tukwesiga nnyo Katonda waffe ........
17. N‟abalira bawe okuwona, tukwesiga nnyo Katonda waffe ........
18. N‟abatambula bonna obamanyi, bakwesiga nnyo Katonda waffe ........
19. Tusaba kimu ffenna okulaba, nga bw‟otubeera Katonda waffe ......
68
86. OSTIA N’EVVIINI ENO
(Fr. James Kabuye)
87. SI BUTAAGAANE
(Fr. Expedito Magembe)
1. Si butaagaane naye kwagala, ffe okukuddiza Lugaba.
69
7. Si butaagaane naye kwagala, ffe okukuddiza Lugaba
Bino ze ntuuyo zaffe - bino ge maanyi gaffe kwe kwagala
kw‟emitima gyaffe - Mukama bikkirize Lugaba Ddunda.
70
Jjukira nti ekirabo ky’omutuufu, kye kinyiriza Altari,
N’akawoowo kaakyo katuuka n’eyo mu ggulu, ne kasanyusa Omutonzi.
Jangu leeta ekirabo kyo, jangu leeta ekitone kyo. x2
71
2. Ayi Mukama, Mukama wange,
Ebirabo byange bino bye ndeese,
Bya kukwebaza ebirungi by‟onkolera.
72
92. TUKUWEEREZA EKIKOMPE
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Tukuweereza ekikompe eky’obulamu Ggwe
Omutonzi w’ensi, kiikino kisiime;
Ggwe Omusaasizi atasingika, kiikino, kisiime;
Ffe abali wano, n’ensi yonna, kitulokole.
(Mu Bwekisiibo)
1. Nsaasira, ayi Katonda, ng‟ekisa kyo bwe kiri,
Olw‟okusaasira kwo okungi ennyo,
Sangulawo ekyonoono kyange.
(Mu Bwomwaka)
1. Ensi zonna mugulumize Omukama
Muweereze Omukama mu ssanyu,
Muyingire gy‟ali nga mujaguza.
73
93. TUZZE TUKUTONERE
(Benedicto Lubega)
Ekidd.: Tuzze …………. Gy’oli Mukama Katonda
Tujja …………. Tukutonere bye tulina
Ka tutoole ku ebyo by’otuwa, tukuddize Lugaba asinga
Tuzze …………. Gy’oli Mukama Katonda
Tujja …………. Tukutonere bye tulina
Tukuddize ku ebyo by’otuwa, tukwebaze Lugaba asinga
Siima, twala, siima bye tuleeta
Twala, siima, twala bino bye tukuwa.
74
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐎𝐊𝐔𝐒𝐄𝐌𝐁𝐄𝐑𝐀
94. ABAAGALWA TUYIMBE NNYO
(Mr. Joseph Kyagambiddwa)
I II
1. Nga tuyimba Ffe nga tuyimba, tutende,
2. Yatuwa ffe Oh, yatuwa ffe! Tusiime.
3. Mu nsi yonna Eh, mu nsi yonna atiibwe.
75
3. Bajjajjammwe baalya mmanu mu ddungu, kyokka baafa
Wabula guno gwe mugaati gw‟obulamu obw‟olubeerera.
76
97. AWABA OKWAGALA
(Fr. James Kabuye)
1. Okwagala kwa Kristu kwatugatta wamu Awo Katonda abaawo Tujaguze era
tukusanyukiremu ffe ,, ,,
Katonda omulamu tumutye era tumwagale ,, ,,
Ffe tumwagale ne mu mitima gyonna obutalekaamu. ,, ,,
5. Mulokozi wange,
Nze nkulagaanyizza,
Okukwegombanga,
Ggwe oli mmere yange.
77
99. EKIRAGIRO EKIGGYA
(Fr. Joseph Namukangula)
Ekidd.: Ekiragiro ekiggya kye mbalekera kye ekyo
Mwagalanenga, mwagalanenga. x2
78
1. Obununuzi bwa Kaliga 3. Katonda oli wa kitalo
N‟ekitiibwa kiri kya Kaliga N’obuyinza obubwe bwa kitalo
N‟obuyinza bwo bwa Kaliga Afuge ensi eno y’agitwala
N‟ennamula y‟Akaliga ya mazima. Tumugulumiza oyo Akaliga.
2. Mmwe abasenze Akaliga 4. Tutendereze Akaliga
Ekitiibwa mukiwe Akaliga Ekitiibwa tukiwe Akaliga
Afune ekitiibwa oyo Akaliga Ffenna obutonde tusse kimu
Mumutendereze oyo Akaliga. Tugulumize oyo Akaliga.
5. Tuyimbe nnyo Akaliga
Mu luyimba olunyuma
Ffenna abatonde tusaakaanye
Tugulumize oyo Akaliga.
Ekidd.: Jaguza yimba, ayi mwoyo gwange anti Omulokozi wo Yezu y’akukyalidde.
Jaguza yimba, ayi mwoyo gwange anti Omulokozi wo Yezu ye
mugenyi wo olwaleero.
79
5. Jangu nno ggwe eyeetegese,
Jangu omutwale tomusubwa.
Ng‟omwaniriza mu nnyumba yo ggwe
Anaakuyamba, akuwenga eddembe.
103. KA TUGENDE
(Fr. Joseph Namukangula)
Ekidd.: Ka tugende ku mbaga y’Omukama atuyita
Yezu Kristu atwagala,
Yezu Kristu atwagala nnyo!
80
1. Musumba owange gwe ntenda 5. Ekijjulo ekyo ky’ategese,
Musumba owange y‟annunda Nga n’omubi omulabe ali awo
Wuuno Omuliisa ow‟ekitalo. Yezu atuliisa ye atumala.
2. Mu ddundiro eyo gy‟antwala 6. Ansiigako omuzigo ku mutwe
Annundira eyo ng‟andiisa Ayooyoota nze, annywesa,
Awali ebirungi eby‟ekitalo. Ekyange ekikompe kijjudde.
3. Erinnya lye nze lye ntenda 7. Ono ddala Mukama ye omu
Annambika, Mukama antwala; Ansimbako eriiso eddungi
Nange kati nno nneesiima! Anti ekisa kye y’akigira.
104. KA TUSANYUKE
(Fr. James Kabuye)
81
105. KRISTU OMUKAMA ALI WANO
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
A. (Abakul.) KRISTU OMUKAMA ALI WANO MU FFE KE KALIGA (A)
Ke Kaliga, ke Kaliga, ke Kaliga ka Katonda (x2)
Omukama wa byonna, Kristu Paska yaffe atambiddwa.
3. Ennyama ye abagirya Omukama abeera mu bo, Omusaayi gwe Abagunywa okufa kwe
bakukuza nnyo .......................................... Oo, Kristu (B)
KRISTU OMUKAMA ALI WANO MU FFE KE KALIGA (A) .......
82
106. KRISTU UKARISTIA YAFFE
(Fr. Expedito Magembe)
Ekidd.: Kristu Ukaristia yaffe,
Bwe bulokofu era n’obuzira
Ge maanyi gaffe n’obulamu
Obw’olubeerera.
83
108. MIREMBE, OMUKAMA, AYI YEZU
OMWAGALWA
(M.H.)
84
2. Oh Kristu Ggwe Katonda, O Kristu ggwe Akaliga;
O Kristu Ggwe Omukama, Osiimye otya okujja omwange?
85
111. MUJJE TUGENDE EW’OMUSUMBA
(Fr. Expedito Magembe)
Ekidd.: Mujje tugende ew’Omusumba, Musumba omulungi, Yezu y’atuyita,
Tugende ew’Omusumba, Omukama Yezu y’atuyise.
“Mujje, mujje gye ndi mmwe obuliga, Mbawummuze era mbayambeko, Mujje , mujje gye
ndi, nze Musumba abaagala.”
Mujje.................................... Nze Musumba
Mujje.................................... Nze Musumba owammwe abaagala
Mujje.................................... Nze Musumba omulungi atabasudde.
86
112. NDISIIMISA KI NZE OMUKAMA
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Ndisiimisa ki nze Omukama
Olw’ebirungi by’ampadde atyo nze,
Ndisiimisa ki nze Omukama, ambedde!
3. Nnaddiza ki Omukama
Olwa byonna bye yampa
87
4. Mu bunaku bw‟ensi sijja kutya onnyamba,
Katonda w‟oli nnaabakinako abazigu.
88
2. Ababi bwe bannumba abalabe bange ababi bwe bannumba okunzita ......
Bawanattuka ne bagwa, bawanattuka ne bagwa,
Eggye bwe linnumba okunzita, eggye bwe linnumba okunzita .....
Bawanattuka ne bagwa, bawanattuka ne bagwa,
Ggwe Obulokofu bwange ayi Mukama,
Ggwe kigo ekinywevu eky‟obulamu bwange, nnaatya ki?
Nnaatya ki? Nnaatya ki? Ani ate gwe nnaatya?
(Ne bwe njabulirwa)...... Ne bwe njabulirwa Taata ne Maama,
(Kasita) .......... Kasita Omukama antutte tanjabulira, ampanguza.
Tonjabulira ayi Mukama, tonsuula ayi Mukama, nnindirira
Omukama alijja,
Nzikiriza ate nga ndiraba ebirungi by‟Omukama mu nsi y‟abalamu.
89
116. NKULAMUSA NNYO YEZU
(Fr. James Kabuye)
117. NNAAKUYIMBIRANGA
(Fr. James Kabuye)
1. Nnaakuyimbiranga Ggwe Mutonzi wange,
Nnaakutenda ku nsi, Ggwe Katonda wange.
90
118. NAAKWEBAZA NTYA MUKAMA WANGE
(Fr. James Kabuye)
3. Ng‟oli wa kisa nnyo Ggwe Katonda wange nnaajaguza Ddunda nga nkwebaza by‟ompa.
Ekidd. II: Bye wakola nga bisukkirivu, nze ssibala byonna Ggwe by’ompa.
5. Nzuuno kye nsaba Ddunda okuva kati, n‟obwesige nkwewa onnambike mbe wuwo.
Ekidd. II: Ggwe atumanyi nga bwe twakolebwa, Ggwe wotoli tewaba ddembe.
91
119. NNGAMBE NTYA
(Fr. James Kabuye)
92
2. Mbeera mu maziga, nkaaba bwe nnoonya;
Abalabe bannyiiza anti banjeeja,
Nti: Aluwa Katonda wo Katonda atakuyamba?
Taata: Yanguwa okunnyamba: ndi bubi!
93
122. NZE ANI AKOOWOOLWA
(Fr. Gerald Mukwaya)
1. Ka twambuke abayite b‟Omukama
Entanda etuuse,
Musagambize b‟ayise kati
Mwenna abeetegese.
94
(d) Okubulwa emu; nze Musumba
Kwe kunyolwa ennyo; nze Musumba
zonna nzagala nze; nze Musumba ................
95
4. Mukama nsonyiwa anti nnasobya bingi, nneebaza lw‟ozze anti osaasira,
Mukama ndayira nange okunywera ku Ggwe,
Yingira jangu Mukama wange, yingira jangu nze nkwagala
Yingira jangu Mukama wange, yingira tuula tubeere wamu.
1. Aaa, nngaanyi, nnina ekizibu, nnina okugezesa ente zange ezo ezirima
Mukama wange anansonyiwa, mugambe nti: Ssisobodde.
2. Aaa, nngaanyi, nnaguze ekyalo, nnina okulambula ekyalo kyange ekyokye nguze.
Mukama wange anansonyiwa, mugambe nti: Ssisobodde.
96
Batismu gituukirize - gituukirize - gwe wasenga tomwegaana
Kye weetema kituukirize - Kituukirize - gwe wasenga tomwegaana
Katonda wo muyinza nnyo - Nnantalemwa - okusamira okwo kwerabire
Amasanyu amabi galeke - nago galeke - sitaani takusiikiriza
Katonda wo mugagga nnyo - mugagga nnyo - ssente tekusuula wabi.
97
5. Omukama ye mubeezi w‟abanaku
Eyafiirira ensi eno n‟agiwonya na bingi
Mu Mugaati gwaffe ye Mulokozi
Omuyambi waffe, atuwa engabo.
98
128. OMUKAMA ANNUNDA
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Omukama annunda, mpawo kye njula:
Y’antwala mu malundiro amalungi, ne ngalamira.
99
4. “Nja kunyweza ezzadde lyo emirembe”,
Bwe yalayira emirembe gyonna.
100
8. Yalyowa Yisraeli omuweereza we,
Ng‟ajjukira ekisa kye kiri.
101
132. OTUMBIDDE WAGGULU EYO
(Fr. James Kabuye)
1. Ayi Mukama atendebwa, Kitaffe
Ggwe watutonda, Ggwe agaba obulamu
Nga wayoleka amaanyi go, Omuyinza
Ddunda b‟oganza, bakutende nnyini.
2. Onneewadde Nneeyanzizza
Wenna Yezu Nneeyanzizza
Nga nneesiimye Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde.
102
3. Ondeetedde Nneeyanzizza
Enneema ezo Nneeyanzizza
Ze nneetaaga Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde.
103
5. N‟ekikompe bwe kityo 7. Ye mu Konsekrasio
Bonna baakikombako, Yezu mwe yeeweerayo
Ne banywa omusaayi gwe Era ne mu Kumunyo
Nga bwe baalya ennyama ye. Tumufuna bulijjo.
3. Mutuukirivu Mutuukirivu,
Omukama Katonda ow‟obuyinza
Bijjudde ensi n‟eggulu
Obukulu bw‟ekitiibwa kye ekyo.
104
Ggwe wazaala yekka oyo
Wamu ne Mwoyo Mutuukirivu Omukubagiza
Akutendereza.
105
2. Bamalayika bakutende,
Bannaggulu bonna bakwebaza,
Bakerubini Basserafini,
Bakugulumize nga bayimba.
106
11. Tutuuze mu Batuukirivu eyo
Mu kitiibwa kyo ekitakoma,
Tuwe ekifo eyo kye wasuubiza,
Mu nnyumba amakula eya Kitaffe. (Ekidd.I)
137. TUJAGUZE
(W.F.)
1. Tujaguze tukube olube, 4. Mukama wange nga nkwegomba!
Tuyimbe ffenna n‟essanyu: Vva mu Tabernakulo yo:
Yezu azze wano ewaffe! x2 Nje nkufune mu bwa Komunyo x2
Tumutende ffenna wamu. Ng’nzijira mu mutima.
107
139. TUKWEWUUNYIZZA, YEZU
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
1. Tukwewuunyizza, Yezu ...............Yezu .........
2. Otuzzizzaamu amaanyi
3. Tukukkiririzaamu, Yezu
4. Omulokozi oli wa kisa
5. Omulokozi, otutukuzza
6. Otubbudde, otunyirizza
108
140. TWANIRIZE KRISTU OMUGENYI OMUKULU
(Ponsiano Kayongo Biva)
Ekidd.: Twanirize Kristu omugenyi omukulu
Ali kati mu ffe wano
O! Kya magero kikulu nnyo
Yezu okujja n’abeera mu ffe, n’afaanana nga ffe!
Azze Omusumba Omulungi, alambudde endiga ze,
Azze, azze, azze, atuliise.
109
2. N‟ebirungi byo Yezu obireese
N‟ogabirako abaana be waganza oyambye n‟otuliisa,
Olw‟obulungi bwo tota na kutwewa
N‟otujjuza enneema ezo amatendo; Ggwe owaffe.
110
5. Kwagala kwo Ddunda gye ndi nze kusuffu,
Wasaasira nze n‟ombiita, wantumira Omwana, Lugaba.
111
144. WEEBALE OKUTWEWA
(Kaloli Lwanga)
112
3. Wulira era nno okwagala okuyinga:
Yezu yalonda asigalenga naffe!
Era ali awo, amazima, akulinze!
Kale genda, weyolekeyo ggwe!
113
4. Nnindirira nnyo nninda - nninda akaseera Ggwe k‟omanyi
Lw‟olijja n‟ontwala - n‟ontwala eyo gy‟obeera
Oyanguwanga n‟onkima mukwano gwo nze omunafu
Onnyambanga Ggwe Omulamuzi
N‟onnamula ng‟oli wa kisa
Ndiraba ntya ntudde eri n‟abalungi abalondemu
Nga nkulabako nti ddala ddala?
Ha! Mukama wange lulikya ddi?
Lwe nneesunga, lwe nneegomba.
114
11. Ebyensi eno Yezu, tibimatiza:
Eyeemalira ku Ggwe y‟amatira: O .... !
116
151. YEZU YE MUGENYI WANGE
(Fr. Gerald Mukwaya)
117
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙’𝐀𝐌𝐀𝐓𝐔𝐔𝐊𝐀
152. ABEERA WA OMUKYALA
(Joseph Kyagambiddwa)
I II
Bannange, tusanyuke nnyo Katonda Mukama
Twesiimye, baganda bange Kabaka ow’eggulu
Mbadde anaatera okuzaalwa Ali mu lubuto wuuli Kristu mw’aliva
Ffe n’atuzaalirwa
I II
Yezu Omwana wa Katonda Katonda Mukama
N‟afuuka omutonde azaalwe Kabaka ow’eggulu
Y‟azze anaatera okuzaalwa Ali mu lubuto wuuli Kristu mw’aliva
Ffe n’atuzaalirwa
118
Ekidd.: Ew’Omukyala nkyadde, nnamaga mmusange
Ate oluvannyuma mbe, mbe nga n’omuto
Ng’azadde Maria Omwana, ne mbaweerezanga eri
E Nazareti bo nga nnyamba Maria! x2
I II
Gwe nninda, laba nkulinda Katonda Mukama
Nninda Ggwe mulindwa wange Kabaka ow’eggulu
Bwa ddi obudde obw‟okuzaalwa? Ali mu lubuto wuuli Kristu mw’aliva
Ffe n’atuzaalirwa
119
154. GGWE KATONDA W’ENSI JANGU
OTULOKOLE
(Fr. James Kabuye)
1. Ggwe Katonda w‟ensi jangu otulokole,
Kristu Katonda alijja jangu otulokole.
120
3. Vva mu ggulu ojje ewaffe 5. Bw’okkiriza jangu ewaffe
Ayi Ggwe Katonda waffe Ng’otuwonyezza n’olumbe;
Otuggye mu bibi byaffe Tuliketenda n’essanyu,
Weewaawo tusaanidde Ggwe Kabaka ow’amaanyi
Omuliro gw‟emirembe Kulembera, tuwangule
Naye era tuddiremu Omulabe sitaani
Jangu, jangu, jangu. Jangu, jangu, jangu.
4. Tunuulira mu nsi zonna, 6. Laba: ennaku zitujjudde
Ffenna tuli mu maziga, Mu mubiri ne mu mwoyo
Tukusaba otusaasire, Jangu mangu, zikkakkane,
Ggwe ow‟ekisa, Kitaffe, Tukwesiga, Ggwe wekka,
Tukusaba: Ojje mangu Kitaffe totwabulirwa;
Okutubeera Kristu Ayi Mukama waffe,
Jangu, jangu, jangu. Jangu, jangu, jangu.
121
157. KATONDA W’AMAWANGA
(M.H)
1. Katonda w‟amawanga. 2. Ennaku zituyinze,
Leka tusaasire! Mpaawo muzaasizi;
Otume gwe walanga, Sitaani y’atusinze;
Ssebo muyanguye! Mukama wonya ensi,
Tusinda mu luwonvu Tulumwa nnyo Kitaffe,
Olw‟ennaku n‟ekibi Mu buddu bw’omubi
Oyambe n‟obugonvu Tema amasamba gaffe,
Ffe abaana aboonoonyi. Jangu Mulokozi.
1. Nnantalemwa afuga amawanga ddala kati azze, kati azze Kabaka w‟eggulu.
Ensi ye k‟ejaguze ddala kati azze, kati azze Omwana w‟enngoma
N‟ebizinga bisanyuke. ddala kati azze, kati azze Kabaka w‟eggulu.
2. Mu maaso g‟ensozi empanvu ddala kati azze, kati azze Kabaka w‟eggulu.
Zonna ezo ziggweerere ddala kati azze, kati azze Omwana w‟enngoma
N‟ensi eno ekankane . ddala kati azze, kati azze Kabaka w‟eggulu.
122
3. Bamumanyi kati banywevu
Beesiimye bajaguze 5. Nnanyinimu muliisa baana
Nnamula ye atuukirire. B’olyoye bakumanye
N’obutuufu bubabune.
4. Buyinza bw‟Omukama bungi
Ku nsi eno bulangibwe 6. Nnantalemwa Messiah atuuse
Tolina Ggwe kikulema. Atuuse tusanyuke
Yeefudde laba omuto.
159. MULOKOZI OLWIRA KI
(M.H.)
123
161. MUNUNUZI AJJA
(Fr. James Kabuye)
124
3. Tumusabe okuwulira 5. Kale nno Kitaffe Patri,
Ebiwoobe by‟abanaku Tukwegayiridde ffenna
Taaleme kutusaasira, Otuwe okwagalananga
N‟atuwa ekifo mu ggulu. Tuleme kukola bibi.
125
4. Entalo za sitaani omuzigu oli
Ddunda ow‟obuyinza ozimalewo
Enduulu n‟okukaaba ebizivaamu,
Obimalewo Kitaffe Omusaasizi
Eddembe liddewo - eddembe liddewo - eddembe liddewo.
126
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀𝐌𝐀𝐙𝐀𝐀𝐋𝐈𝐁𝐖𝐀
165. ABASUMBA
(W.F.)
127
167. AMALOBOOZI AMANYUVU AGA
BAMALAYIKA
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
(B)
Ekiri mu ggulu kya ttendo Ky‟ekyo Ddala
Omutonzi atiibwa ,,
Ensi eri bulala lwa Mwana ,,
Yee, Katonda mulungi ,,
Singa mmugoberera nga ntuuse ,,
Yee, olwo nga ndokose ,,
128
168. AZZE OMUNUNUZI
(Fr. Expedito Magembe)
129
3. Abasajja Abasumba azze Malayika ababuulidde,
Nti temutya mbagumya Omulokozi abazaaliddwa.
130
6. Obukyayi n‟entalo bigende
Anaabimalawo atuuse, ye Mulangira ow‟Eddembe
Ye mukwano gw‟abatonde bonna
Azze wuuno Omulangira ow‟eddembe.
(Azze ow‟ekitiibwa)
171. BETELEMU
(Fr. Joseph Namukangula)
2. Ssabalangira....
Kristu azaaliddwa ggwe
3. Ssabazaawuzi...
Ozze okuzaawula ffe
Ssanyu lisusse, ssanyu lisusse, Omununuzi atuuse. x2
I II
a) Bannange Abasumba mujje Tugende
Anti mbayita obw‟edda Tugende
Tugende e Betelemu Tugende e Betelemu
Tulabe Omwana oyo azaaliddwa.
131
e) Yeebase awo mu Kabanvu h) Ye ono Kigambo y’azze
Bambi empewo emufuuwa Mukama lwaleero azze ku nsi
Anti awo awasula ente. Mmwe ensi kati muyimbe.
f) Maria ne Yozefu abange i) Olwaleero kigambo kya ssanyu
Mbalaba mufa ekitiibwa Mukama lwaleero azze ku nsi
Wuuno kabiite wammwe. Mmwe ensi, kati muyimbe
7. Noel! Noel!
Emmanuel
Azze mu bantu
Mujje gy‟ali
Ali kumpi
Mu Ssakramentu.
132
173. E BETELEMU ABASUMBA
(M.H.)
133
175. IN DULCI JUBILO
(M.H.)
1. In dulci jubilo! 3. O patris claritas
Kibe kijaguzo! O nati lenitas!
Tulamuse Kabaka Ennaku zaatusanga
Est in, praesepio. Per nostra criminal,
Alinga enjuba eyaka, Kaakano wa amawanga
Matris in gremio! Coelorum gaudia!
Alpha es et O, Quanta gratia!
2. O Jesu parvule! 4. Ubi sunt gaudia?
Leka nkusaasire! Awali omwagalwa,
Weefudde munkuseere, Mu ggulu bwe bayimba
O Puer optime! Amoris cantica.
Ayi Yezu omuwere Ayi Yezu nnyimbe ennyimba
O priceps gloriae! Regis in curia,
Trahe me post te! Kristu, ndokola.
134
177. KRISTU ATUUSE
(Fr. Expedito Magembe)
135
2. Mujje tweyanze ono Kabaka 4. Otwagala mu ngeri nsuffu
Kristu azaaliddwa eyatonda byonna, Kristu azaaliddwa ku lwaffe ffenna,
Ye Mwana, ye Mwana wuuno, Otuuse, otuuse Kristu,
Azaaliddwa mu bwavu. x2 Ozaaliddwa mu bwavu. x2
136
180. MUJJE MMWE TWEJAGE
(M.H.)
137
182. MULOKOZI AZAALIDDWA
(W.F.)
1. Mulokozi azaaliddwa Alleluia
Leero mpaawo atasanyuka. Alleluia Alleluia
138
16. Bwe baatuusa okutambula Alleluia
Ne bakwata ekkubo eddala. Alleluia Alleluia
6. Mwanguweko Bakabaka:
Mugoberere emmunyeenye:
Mwanguweko Bakabaka:
Musinze Mukama wammwe.
184. NNAMULOOSE
(Joseph Kyagambiddwa)
139
2. Nnamuloose alebaaleba atalabwa Ssabalangira,
Ng‟ali wano eyalangibwako edda ,,
Nnamuloose mmulamusa Yezu ,,
Ng‟ate nsinza nsanyuka na nnyo ,,
Atuuse mazima ye Ye ,,
Omufuzi Kabaka w‟ensi eno ,,
A- A- Azze? -Ssabalangira: O -O -Oli Ssabalangira. x2
140
5. Ali naffe mu kutambira, ali naffe mu Wostia,
Atuyita tubeere wamu, ffe baana Ye b‟alyoye, tumuwulire,
Atutwalenga, tutuuke naffe mu ggulu.
141
187. OMUNUNUZI KRISTU AZAALIDDWA
(Fr. Expedito Magembe)
142
3. Ekitwesiimya ku nsi leero, nze nkigaya;
Anti ndaba Omutonzi bwe yeefudde Omwana.
Ggwe wamma kya ssanyu! Abantu tuweereddwa!
Yezu bw‟avudde mu ggulu, atuwonyezza obunaku.
Tumusseemu ekitiibwa, Tumusseemu ekitiibwa.
1. Sirika wulira,
Betelemu weesiimye 3. Sirika, wulira,
Yezu Kristu gy‟ali atuuse Bethlemu weesiimye
Mu kabanvu mw‟ali wuuno Omuzadde gy’ali ayonsa,
Nnyina ng‟asanyuse nnyo Ne Yozefu gy’ali asinza
Nnyaffe ali awo atudde. Yezu atuuse mu bantu,
Yezu atuuse wuuno.
2. Sirika wulira,
Betelemu weesiimye 4. Sirika, wulira,
Bamalayika bazze bangi Weesiimye Bethlemu
Abasumba bali eyo anti Tugende tweyanze ffe,
Omulindwa Yezu leero ozze! Nga tusanyuka ozze mu ffe
Omulindwa atuuse. Tweyanzizza Yezu waffe,
Tweyanze Yezu otuuse.
143
2. Atuuse talwa atuuse.... Ssabalangira
Atuuse gwe banngamba.... ,,
Ewaffe talwa atuuse.... ,,
Atuuse gwe twegomba..... ,,
Leero nze nsaba, nsinza.... ,,
Atuuse gwe twegomba.... ,,
Mu mmanvu ndabye akaaba.... ,,
Asiimye okuba omwavu.... ,,
Atuuse tagwa ssaawa... ,,
Ye wuuyo e Betelemu.... ,,
144
191. TULI MU SSANYU
(Fr. James Kabuye)
b) // Atwagala Omununuzi
Atwagala Kristu nkwewuunya Ggwe
atwewadde Omununuzi x2
Ha.... Omununuzi
Ha.... Omununuzi.
2. Tuli mu ssanyu...
b) Omwana wo Omununuzi
Omwana wo Patri ataggwaawo y‟atwewaddeOmununuzi x2
Ha.... Omununuzi
Ha.. Omununuzi
145
192. WULIRA BAMALAYIKA
(W.F.)
1. Wulira Bamalayika 5. Musituke nno timulwa
Nga bwe bayimba n‟essanyu.
Nemweyuna e Betelemu
Ne beetaba bonna awamu,
Azazikiddwa mu mmanvu
Mu luyimba olw‟ekitiibwa.
Eyo gye munaamusanga
Ekidd..: Gloria in excelsis Deo. x2
6. Amangu ago neb agenda
2. Abasumba ne beekanga, Ne batuuka mi kisibo
Nga balabye Malayika. Basanzeeyo akaana akato
Baamulaba ng‟atangaala, Ne Yozefu ne Maria.
Atukula amasamasa.
7. Bonna awo bwe
Baamwekanya
3. Malayika n‟abagamba, Ne ataba atakkiriza,
Abange muleke okutya. nga akaana ako ye Katonda.
Ka mbabuulire ekigambo, Baavunama ne basinza.
Ekinaabasanyusa ennyo.
8. Naffe ffenna tukkirize,
yezu eyava mu ggulu
4. Omulokozi w‟abantu,
Mulokozi mu lazaanye
Olwaleero azaaliddwa.
Tumuyimbire n’essanyu.
Ye Katonda ow‟omu ggulu
Atuuse okubanunula.
146
3. Ensi yayuuguuma Omulokozi lw‟ajja
Emmunyeenye y‟Oli azze, Bamalayika abazibu
Be baabo Omwana wa Katonda Omu b‟aleese
“Beesiimye abantu abalunngamu!
Mujje tumusinze! Mujje tumusinze.
4. Twetowalize eyeebase
Mu kabanvu nga tuvunnama!
Twetowalize eyeebase
Tweyanze n‟Omuzadde we!
147
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐄𝐊𝐈𝐒𝐈𝐈𝐁𝐎
195. BIKIRA OMUZADDE
(Fr. James Kabuye)
148
3. Mwenna Abasatu ensulo y‟obuyambi,
Trinita Katonda Omu bw‟ati,
Byonna bikuwe ettendo ery‟obutonzi,
Wa tuwangule tutuuke gy‟obeera.
4. Akabi tikalikusemberera,
N‟akabenje tikalisemberera weema yo ggwe;
Kuba yalagira Bamalayika be, bakukuume
Wonna wonna w‟oyita!
149
2. Nnyima mu kiwonvu ne nkuwanjagira ayi Mukama,
Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange.
199. MBONAABONA
(Joseph Kyagambiddwa)
Ssabanunuzi Mbonaabona
Endwadde olwadde ki? Mbonaabona
Ssabanunuzi Mbonaabona
Ofudde okwagala Mbonaabona
150
Singa abambowa Mumpe ekyokunywa
Nze nno akussisa Mumpe ekyokunywa
Nange banzite nfe tufe wamu naawe ..... Mbonaabona
151
4. Naye ewuwo y‟eri ekisonyiwo ky‟ebibi byaffe,
Basobole bonna okukuweereza n‟ekitiibwa kyonna.
152
202. NNAKOOWOOLA OMUKAMA N’AMPULIRA
(Zab: 7) (Fr. Expedito Magembe)
Ekidd.: Mu nnaku zange nnakoowoola Omukama
N’ampulira Omukama mulungi asaasira. x2
153
204. N’ABONAABONA N’AYITIRIZA
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: N’abonaabona n’ayitiriza, n’abonaabona obutakoma
N’akomererwa, n’afumitibwa, n’avumirirwa baganzi be.
154
206. OMUSAALABA, OMUTI
(Fr. James Kabuye)
155
8. Trinita afune ekitiibwa ennaku zonna.
Patri ne Mwana bakyenkanye n‟Omukubagiza ettendo
Alifune kyenkanyi;
Erinnya ly‟omu oyo Nnabasatwe,
Byonna bitenderezebwenga. Amiina.
156
Katonda Mulokozi era musaasizi –
Katonda tumutende kuba musaasizi -
Katonda ye yateesa kuba musaasizi - Ayi mwoyo gwange.....
157
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀𝐌𝐀𝐙𝐔𝐔𝐊𝐈𝐑𝐀
210. ABAKRISTU MUWULIDDE
(W.F.)
158
3. Tubuulire Maria ky‟olabye mu kkubo:
Nnalabye entaana ya Kristu omulamu
Nnalabye n‟ekitiibwa ky‟Azuukidde,
Ssaako Bamalayika abankakasizza,
Ekiremba n‟ekyambalo, Kristu essuubi lyange,
Azuukidde, alibeesooka e Galilaaya.
159
213. ALLELUIA, AZUUKIDDE
(Fr. Expedito Magembe)
1. Ku makya kuti abakyala baali bagobye ku ntaana eyo Yezu gye baamuteeka,
Beebuuzizza tebalaba: oguyinja ku ntaana baagutadde wa?
Kyokka gye baakuba amaaso ng‟omulyango gw‟entaana gwo nga muggule.
Malayika w‟Omukama baamulaba, n‟abategeeza nti: Azuukidde.
160
2. Mutubuulire abakyala gwe mukaabira mbadde nngamba Yezu yazuukidde.
Anti munoonya Yezu ow‟e Nazareti,
Taliimu, azuukidde nga bwe yagamba.
Taliimu mujje mulabe, we baali bamutadde Yezu.
161
216. AZUUKIDDE / ALLELUIA
(Fr. James Kabuye)
162
1. Omulwanyi Yezu awangudde, agobye olumbe
Tusagambiza lwa ttendo, tuyimbe ffenna, alleluia
Anti b‟akulembera tununuddwa, alleluia
Twejage ddala atubbudde - aluwa walumbe aluwa?
Aluwa walumbe aluwa? Takyawuuna, takyanyega, takyatala,
Awanguddwa, mazima ddala aswaziddwa takyatala.
5.
(a) Omuwanguzi Kabaka Ggwe, tunyweze nno tuli baana bo b‟olonze
(b) Ggwe akulembera abatabaazi, tuwe amaanyi, Ggwe engabo etuwa obuwanguzi
(c) Tuwera kimu ab‟oku nsi: Kunywera ffe tukuwondere n‟obuvumu
(d) Nga tulumaze olutabaalo, tube Naawe, Ggwe Omulokozi alituweera.
(Aluwa…………..)
163
218. E GALILAAYA GYE MULIMUSANGA
(Fr. Joseph Namukangula)
164
219. EWA PATRI KATONDA
(W.F.)
Ekidd.: Ewa Patri Katonda
Yezu waffe oddayo,
// Naffe emirembe gyonna
Gy’oli tubeereyo. //
165
4. Ayi Yezu Ggwe tukweyunye, Alleluia!
Ensi ffenna tugidduse, tukulonze!
Byonna by‟onootulagiranga, Alleluia!
Ffenna tujja kubituusanga; ka tugonde!
Alleluia, Alleluia, Alleluia!
166
TUTTI:- Kiki ekyo leero ekiritwawukanya?
Kristu ate kiriba kiki? ......... Mukama leero tuliba tutya?
TUTTI:- Kiki ekyo leero ekiritwawukanya?
Eyatwagala bw‟ati, //yatuganza nnyo// .... Mukama atwagala
Yatusaasira owaffe, //yatuganza nnyo// .... Mukama atwagala
Yatubiita owaffe, .... //yatuganza nnyo// .... Mukama atwagala.
167
2. Ddala Kristu atambiddwa, atambiddwa ku lwaffe,
Ye wuuyo Akaliga akaggyawo ebibi by‟ensi - kamalawo olumbe.
168
4. Mpulira eddoboozi ly‟Omukama limpita,
Mpulira eddoboozi ly‟Omukama lyogera x2
Nzuukidde nkyali nammwe, mmwe nno abajulizi abansenga x2
Mugibuulire ensi yonna.
169
4. Yezu Omukama avuddeyo emagombe Alleluia
Luno olunaku Katonda alutuwadde Ka tumwebaze
170
2. Gano gano -------- gano ge mazima ge nnangirira
Ekigambo kino gwe musingi kwe nnyweredde.
GANO GE MAZIMA
171
Ekidd.: Ka tuyimbe ffenna n’okujaguza
Paska anti y’eno, lwe lw’obulokofu.
Tuyozaayoza Kristu olw’obuzira bwe;
Tumukulise Yezu lw’agobye entalo,
Atuggye naffe mu nnaku omugobi.
Bonna: Nga musaasizi, Yezu Omuzira
Kristu nga muwanguzi sso okuzuukira
Mutabaazi! Alleluia!
172
230. WALUMBE BAAKUMALA EMPAPALA
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Walumbe, walumbe, walumbe nga tokyawaza x2
Baakumala amaanyi Kristu bwe yava emagombe nga mulamu
Yakumegga - Kati oli lutindo lwe tuyitako okutuuka mu
Kitiibwa kya Kitaffe, mu kusanyuka okw’olubeerera.
// Walumbe nga tukuwonye, walumbe nga tukuwonye, mirembe.//
5. Sitaani tuveeko
Yezu ye Luwangula
Akutte omunyago
Ffe ffenna tuli babe
Yekka ye Kabaka
Owannamaddala
Emitima tugimuwadde.
173
232. YEZU EYAFA LULI
(Joseph Kyagambiddwa)
1. Yezu eyafa luli lw‟ameggwa olumbe!
Wuuno yalugobye, leero azuukidde!
Bwe yayimuse n‟alussa omuggo anti Omusaalaba.
174
233. YEZU LEERO ASINZE
(W.F.)
175
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐎𝐊𝐔𝐅𝐔𝐍𝐃𝐈𝐊𝐈𝐑𝐀
176
Nze mbatwala, nze mbaliisa, emirembe x2
2. Omwoyo gw‟abantu be Mukama gumulumye wulira agamba,
“Nze nzennyini, nze nzennyini nsituse,
Ka ntaase abantu bange mu buyinike n‟okufugibwa.
Mbayingize mu Yeruzalemu omuggya.
Munaabanga bantu bange mmwe, nnaabanga Katonda wammwe x2
Nze mbatwala siribaleka, emirembe x2
177
238. KATONDA ALIBAWEERA
(Fr. Expedito Magembe)
178
240. KA TULAMAGE FFENNA
(Fr. James Kabuye)
179
4. Obugagga bw‟ensi butusendasenda,
Bulinga omuddo ogw‟oku ttale,
Kyokka tumanye nti: mu bwo
Mwe tuyigira okutoola, kuyaba abalumwa
N‟oddiza Katonda, nga bwe yasuubiza nti:
Buli ampeereza, Kitange alimuwa ekitiibwa,
Nange we ntudde naye w‟alituula.
180
1. Mugende mu linnya lya Patri Katonda,
Mugende mu linnya lya Yezu Katonda
Mugende ku bwa Mwoyo Mutukuvu abakulembere,
Mube mirembe mu maka gammwe mube mirembe
Mu bye mukola yonna mutwaleyo Yezu Kristu.
244. MWERABA
(George Ssebutinde)
181
245. NJA KUNYWERERA KU YEZU
(Fr. Expedito Magembe)
182
247. TUGENDE TUDDE EKA
(Alphonse Ssebunnya)
183
c) Mwekkaanye nze mbasindise, tebababuza amazima ......
Ha ... Tuli batume .......
184
l) Kristu anaakubeera TULI BATUME,
yonna..... Tuli batume, tuli batume
185
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀 𝐘𝐄𝐙𝐔 𝐊𝐀𝐁𝐀𝐊𝐀
250. AMAWANGA GONNA
(W.F.)
186
3. Mu Kitambiro Ekitukuvu Tumutende
Mu ssaala eza buli ngeri Tumutende
Mu ssanyu nga tusagambiza Tumutende
Mu nnaku bwe tunakuwala. Tumutende
187
5. Etti lye baatikka oyo Yezu, 7. Kyaddaaki essaawa bwe yatuuka,
Nga zzito nnyo nnyini kufa, Yatuwa eri Nnyaffe ffenna,
Ne limukooya okuyinga Maria bw’atyo bwe yafuuka
Yagwa wansi awo ku kkubo. Muyambi era Nnyaffe abaana.
188
254. GGWE KABAKA GGWE MUKAMA
(Fr. Expedito Magembe)
189
256. KABAKA W’EGGULU
(M.H.)
1. Kabaka ow‟eggulu n‟ensi zonna, 2. Mu nsangi ezaayita mu nsi muno
Mukama Ggwe ow‟obuyinza, Nga tibakumanyi n‟akamu:
Ye Ggwe gwe tusenga n‟obuzira, Era ne balemwa amateeka go
Gwe twerondedde, gwe tusinza. N‟empisa ez‟eddiini ennamu.
Twayingira dda mu busenze buno Kabaka omutiibwa, tukwebazizza
Tubunywereremu, Ku lw‟okutuwonya
Titujja kuvaamu Mu kwebonyaabonya,
Tufugenga! Mu kufa kwo.
190
258. KRISTU LYE SSUUBI LYANGE
(Fr. James Kabuye)
191
3. Wavubukanga mu myaka gyo, ng‟ojjude amagezi,
N‟enneema ya Katonda ng'ekuliko.
Ng‟osanyusa Katonda n‟abantu.
Yamba abavubuka, bakufaanane mu mayisa,
Bavubuke mu kukkiriza.
3. O yo ye nno akankane
Oyo sitaani ye nno akankane
Ggwe ........... Yezu gikomye
N‟enngoma ye Ggwe Yezu gikomye
Twa ..... la yonna ensi.
Twala bw‟otyo yonna ensi
Ffenna Ggwe kulembera.
192
4. Nga .... Ggwe .... otukulembedde 5. Yee,….. Ggwe, kuuma abaana bo
Nga Ggwe omuyinza otukulembedde Ggwe omuyinza kuuma abaana bo
Yee ........... naffe tetutya Ggwe ….. Yezu omulungi
N‟otuwa amaanyi, naffe tetutya Tweyunge gy’oli Yezu omutiibwa
Ggwe ............ bw‟obaawo Ffe ….. abaana
Ggwe omuyinza bw‟obaawo Kuuma, taasa, ffe abaana
Tetutya bikalubo. Ffenna ka tukwesige.
193
262. YEZU KABAKA
(Fr. Expedito Magembe)
194
264. YEZU KATONDA GWE TUSINZA
(W.F.)
195
266. YEZU KRISTU, WANGULA
(M.H.)
196
268. YEZU OKUKUJJUKIRA
(W.F.)
197
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐄𝐒𝐒𝐀𝐊𝐑𝐀𝐌𝐄𝐍𝐓𝐔
270. AYI MUTIMA GWA YEZU
(W.F.)
Ekidd.: Ayi, Mutima gwa Yezu,
Wulira ffe abaddu;
Yezu waffe tukwagala,
Ggwe tufuge, Ggwe Kabaka,
Yezu waffe tukwagala,
Ggwe tufuge, Ggwe Kabaka.
198
272. KATONDA YEZU OMWAGALWA
(M.H.)
199
274. OMUTIMA GWA YEZU OMUGANZI
W’EMYOYO
(W.F.)
200
6. Mu bibatu ne mu bigere
3. Ne bamutuusa ewa Pilato
Baakomereramu enninga;
Baamuvuma, baamukiina;
Omusaayi ne gutiiriika
Yezu nga tabaddamu kigambo
Ne basimba Omusaalaba.
N‟atabanakuwalira.
7. Bwe yali ng’anaatera okufa
4. Ku mutwe baamussaako omuge,
Yatulaamira Nnyina we;
Ogw‟amaggwa amawanvu;
Maria naye n’akkiriza
Baamukuba, baakeesa obudde
Ffenna ne tuba baana be.
Amaanyi ne gamuggwamu
8. Yezu Ggwe Omulokoza waffe
5. Ne bamutikka Omusaalaba
Tukusaba otusonyiwe;
Ogw‟omuti omuzito
Ebibi byaffe tubikyaye,
Gwamumenyaamenya amabega
Leero nno tuboneredde.
Nga bwe gumukuba ebigwo.
201
277. TUSINZE SSAKRAMENTU
(W.F.)
202
3. Ggwe nnannyini nneema, 5. Tuwe mu Ostia,
Otuwa mu mwoyo Obutukuvu bwo
Mu Ukaristia Ne tubeera babo
Obulamu bwo. Nga tusembera.
7. Tukutendereza,
Mu bulamu bwaffe
Ne mu ggulu ffenna
Tulikwagala.
203
280. YEZU NKUSINZA
(Fr. James Kabuye)
204
5. Yezu tuwe tukwagale,
Fuulanga emitima gyaffe
Mikkakkamu, miwombeefu
Gikuweereze n’essanyu.
205
284. YEZU WANGE OMUTIIBWA
(Joseph Kyagambiddwa)
Abakulembera: Yezu wange omutiibwa Ggwe alabika wano
Mu Ssakramentu lye nsinza gwe nnyaniriza
Nkwagala, Mukwano Kristu Lugaba
Nkwagala kuyinga, nkwagala kufa.
206
4. Ne bwe ssikulaba na biwundu byo
Omutume Toma bye yalabako
Sso nange nkuyita Mukama wange
Ggwe Katonda wange mwagalwa wange
207
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀 𝐌𝐖𝐎𝐘𝐎 𝐌𝐔𝐓𝐔𝐔𝐊𝐈𝐑𝐈𝐕𝐔
287. AYI MWOYO MUTUUKIRIVU
(W.F.)
208
2. Muzzeeyo sitaani omubi; 4. Gy’oli Ggwe ffenna tweyunye,
Emirembe gya Katonda gitujjuze, Okuyiga Patri, Mwoyo ne Mwana
Ng’olambika, tunaagoba, Ffe tumanyi mutwagala,
Ennaku zonna ez’ensi. Tukkiriza era tusuubira.
5. Ayi Ggwe Kitaffe aliwo,
Patri, Mwana ne Mwoyo ffe tubeebaza,
Mwenna wamu mutendebwa,
N’ettendo lyo libune ensi eno.
209
290. EBITONE BYA MWOYO MUTUUKIRIVU
(W.F.)
Ekidd.: Ayi Mwoyo Mutuukirivu Mukubagiza w’emyoyo,
Vva mu ggulu otubeeremu, otuwe ebitone byo. x2
210
6. Ggwe tujjuze ekitangaala ky’obutuufu bwo,
Eddiini tuginyweze gy’oyigiriza.
211
293. JANGU MWOYO MUTUUKIRIVU, JANGU
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
Ekidd.: Jangu Mwoyo Mutuukirivu Jangu
Emirembe gibe ku ffe, Jangu!
212
2. Ggwe eyayogeza Abatume ennimi ze batamanyi jangu
JANGU MWOYO OTUBEEREMU.
Ggwe eyagabira Abatume amaanyi amazibu jangu
Ggwe eyakozesa Abatume bali ebyamagero jangu
Ggwe eyayiwa mu Batume amagezi amazibu jangu
Ggwe eyayamba Abatume ne baba abazira jangu.
213
296. NNINA OMUWOLEREZA
(Fr. James Kabuye)
214
297. WAMMA WAMMA ATENDEREZEBWE
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Wamma wamma atenderezebwe
Wamma wamma atenderezebwenga Omukama
Atuwadde Mwoyo we.
215
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀 𝐁𝐈𝐊𝐈𝐑𝐀 𝐌𝐀𝐑𝐈𝐀
298. AMATENDO GA BIKIRA MARIA
(W.F.)
216
7. Toyabuliranga, 8. Twala emyoyo gyaffe,
Buganda bwaffe; Ayi Maria;
Ffenna tukwesiga Mulokozi waffe
Ggwe Nnamasole. Lw’anaagisiima.
9. Ka tulowoozenga
Nnyaffe Maria
Tumulamusenga
Ave Maria.
217
302. AYI MARIA NNYIMBE LEERO
(W.F.)
1. Ggwe mukyala
3. Abakyala n’abazaana
Eyatuzaala
Ggwe obawa ekiddukiro:
Eri ku Kalvariyo;
Ggwe obakyusa
Tuneewanga buli bbanga
N’obatuusa
Nnyaffe atalituvaako.
Mu maka g’Omwana wo.
2. Era Nnyabo, 4. Ggwe munaala
Beera ngabo, Abatabaala
Ngabo y’abavubuka; Gwe baba begumyako;
Obabeere batereere Abakoowa n’abatakoowa
Mu kukemebwa kwonna. Bajune n’ekisa kyo!
5. Bwe tugenda
Mu luwenda
Oluva mu nsi muno:
Nnyaffe, yamba
Okulusamba
Tuzze mu mikono gyo!
218
304. BAANA BA BIKIRA MARIA
(W.F.)
219
306. BIKIRA MARIA OWA ROZARI
(W.F)
220
7. Tukwate ku mukono mu budde obw’okufa,
Otutwale eri Yezu kumpi ne Katonda.
309. EBYOKUNYOLWA
(W.F.)
221
310. EKITIIBWA KYA MARIA
(W.F.)
222
312. GGWE NNYAFFE TUKUTENDA
(W.F)
223
Kiddukiro ky’aboonoonyi
Ssuubi ly’abanaku ku nsi
Ndabirwamu y’ebirungi byonna
Nsibuko y’essanyu lyaffe
Nkuluze y’ebirungi byonna
Mukubagiza w’abanaku ku nsi
Mubeezi w’abanaku ku nsi
Nnyina Katonda Omulokozi oli
Omuzadde w’abatonde bonna.
1. Ggwe wazaala oli gwe baalinda, ggwe wazaala oli gwe baalanga - Messiya
Oli Nnamukisa mu batonde era, Oli Nnamukisa mu baanunulwa - Maria.
Mu kutondebwa yakweroboza n’akutaliza buli kibi kyonna - Maria.
Wakkiriza Kristu afe alokole ffe aboonoonyi - Maria.
N’akutukwasa ye ng’afa, okumeekume ffe abaanunulwa - Maria.
224
Ekidd.: Mmunyeenye yaffe ey’Evanjili,
Maria nkwekwasizza ndi mwana wo. x2
Ekidd.: .......
225
316. MARIA MU GGULU
(W.F.)
226
318. MARIA NNYAFFE OTUYAMBE
(W.F.)
227
319. MARIA NNYINA YEZU KRISTU
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Maria, Nnyina Yezu Kristu wa bonna,
Maria, Nnyina Yezu Kristu, tuyambe.
228
321. MIREMBE AYI MARIA
(M.H.)
229
2. Ayi Ggwe, Nnamasole, 4. Ayi Nnyabo ow’ekisa
Katonda yakulonda, Omwana wo yennyini
Ofuuke Nnyina we: Yatukulaamira
Ayi Nnyina we: Tunyweze nno mu ddiini
Tukugulumize. Gye yatusomesa.
Nnamasole, tukwewadde, Ffe abaan bo, ffe tuutuno
Tusabire kaakano, Tusabire kaakano,
Naddala nga tufa. Naddala nga tufa.
230
5. Kiddukiro ky’aboonoonyi,
Ggwe atuwa enneema zonna
Abaana bo tuzze gy’Oli,
Tusabire, tukwesiga.
231
3. Ggwe wazaala Omwana wo, Omulokozi ddala ddala,
Ye Mwana ddala ddala owa Kitaffe nnamaddala,
Wa luganda nnamaddala ggwe muzadde ddala ddala,
Twesiimye ffe abaana bo ggwe Nnyaffe ddala ddala.
232
2. Mmange omugagga ennyo,
Yezu ye Mwana wo,
Ssanyu n’essuubi lyo
Nkwejagidde!
Ye yakutukuza, Ye yakubiibiita,
Ye yakuwanngamya, kulika ggwe!
4. Nnyabo omusaasizi,
Ssuubi ly’aboonoonyi
Nnyina Omulokozi,
Nkwesize ennyo!
Rooza ey’okwagala, Ddanga ery’okwekuuma,
Ddembe lye nneegomba, nkwesize nnyo!
233
4. Ensi etabuse tuyambe tuwonye,
Ffenna abaana jangu otubbule,
Laba omulabe ajja atusaanyeewo
Tuyambe Nnyaffe, tutaase abalabe.
234
4. Bikira Maria Nnyaffe tusaba kino
Tutaase endwadde etumalawo.
Tusaba tuyambe Nnyaffe Ggwe ow’ekisa
Tusabire tuyambe tuggwaawo.
235
332. OLWALEERO BIKIRA MARIA
(W.F.)
236
334. SAASAANA BUNA ENSI
Ekidd.: Saasaana buna ensi; Nnyaffe ow’ekisa
Ekitiibwa kyo kituuse wonna: Nnabakyala
Tukutenda Omuzadde w’Omukama: Ggwe Nnamukisa.
335. TUKULAMUSIZZA
(W.F.)
1. Tukulamusizza, 3. Era abavubuka
Nnyaffe ow’ekisa; Nabo basabire;
Tukuvunnamidde, Bonna banyiikire
Tukwewombekedde. Mu bulungi bwonna.
2. Abaana abawere 4. Abakulu nabo
Tubakukwasizza; Bakoowoola gy’oli
Obawambatire Obasseeko omwoyo
Obaleze ekisa. Bakusaba bingi.
237
5. Abazadde baffe, 7. Aboonoonyi nabo
Tobeerabiranga; Obasabiranga;
Batukuumirenga, Bonna beekomeko,
Mu bukadde bwabwe. Babonererenga.
238
.
C. Ddala kituufu tebawuliranga,
Tewali mu Uganda yaddukira gy’oli,
N’omugoba nga tomukkirizza.
Abakwesiga obayamba, obakuuma, obasiima, obawanguza
Mu byetaago, bali wagumu muzadde w’oli,
Abamenyese emitima obaagala,
Abakusaba amagezi obaagala, abalwadde n’abaavu obaagala,
Mu bizibu byaffe w’oli, w’oli Nnyaffe otuwanguza.
1. Tukukwasizza 5. Tukukwasizza
Emibiri gyaffe, Obulamu bwaffe,
Era n‟emyoyo gyaffe Era n’okufa kwaffe
Giigyo Maria. Biibyo Maria
2. Tukukwasizza 6. Ku lw’ekisa kyo
Ebikolwa byaffe, Tufunyise eggulu,
N‟ebirowoozo byaffe, Kye tukusaba leero;
Biibyo Maria. Tujje eri Yezu.
3. Tukukwasizza 7. Maria Nnyaffe
Okwesiima kwaffe Otaase abaana bo,
Era n‟ennaku zaffe Buli kibi ky’olumbe
Biibyo Maria. Ekitta omwoyo.
4. Tukukwasizza 8. Nnyaffe weeraba!
Olugendo lwaffe Gye tunaagendanga,
Otukuumanga Nnyaffe Titukwerabirenga,
Ayi Maria. Nnyaffe weerab!
239
338. TUTENDE MARIA
(W.F.)
240
4. Nnyumba ya Katonda - mu ffe be yaganza Omwana we.
Maria gwe yalonda abeere naffe. x2
241
3. Yali Yozefu olwo Maria atidde Mirembe
Ky‟atya kwe kumuwasa oyo: Mirembe
“Eky‟omu nda, kyakolebwa Mwoyo; Mirembe
Twala eka Omugole wuuno! Mirembe
242
342. YIMBA, YIMBA, MWOYO GWANGE
(M.H.)
243
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀 𝐘𝐎𝐙𝐄𝐅𝐔
343. AYI YOZEFU GGWE KITAFFE
(W.F.)
244
345. AYI YOZEFU SSABAZADDE
(M.H.)
1. Nnanga ki nze gye nnaavuumya, 3. Ggwe oli ssanyu ly’abatonde
Mannya ki nze ge nnaatuumya Ggwe musaale w’abalonde
Oluyimba lwo luno? Ssabayambi atalabwa!
Ayi Yozefu! Ayi Yozefu
Ekidd.: Ayi Yozefu Ssabazadde:
Ebinkooyesa mbitadde
Mu mikono gyo byonna.
Ayi Yozefu.
245
347. KUUMA, KUUMA
(W.F.)
246
349. TUZZE AYI YOZEFU
(W.F.)
247
4. Omukuumi omwesigwa totusuula yanguwa;
Okujuna, ebyensi taata bitumalawo.
248
7. Omuzigu bwe yafa, 8. Yezu bwe yasuumuka,
Mwaddayo e Galilaya, N‟alyoka akusiibula,
N‟obeerayo ng‟obajja, Naawe nno olwo kwe kufa
Awamu n‟Omukama, N‟ogenda ewa Katonda.
Ayi Yozefu. Ayi Yozefu.
9. Yozefu, Omukuumi,
Oli leero mu ssanyu
Tuwe okukyawa ebibi
Tukulabe mu ggulu
Wamu ne Yezu.
249
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀 𝐌𝐀𝐋𝐀𝐘𝐈𝐊𝐀
354. MALAYIKA OMUKUUMI
(W.F.)
250
356. OLWA MALAYIKA OMUKUUMI
(W.F)
251
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀𝐁𝐀𝐓𝐔𝐔𝐊𝐈𝐑𝐈𝐕𝐔
252
4. Watunda n‟ebintu byo lwa kwagala Yezu,
Ng‟oyagala abantu bamanye amazima,
Tusabire naffe tuyagale Yezu,
Tunywerere gy‟ali tutuuke mu Ggulu.
253
iv. Omukama by‟anjagaliza : Nga mbyagala
v. Nga nsanze ebinnyigiriza : Ng‟olwo nnguma
vi. Akakubo k‟ondagirira : Nga mpondera
vii. Bwe ntuuka we nnemererwa : Ng‟oyambako
Omutima gwange ngusse ku Mukama.
254
363. TEREZA, TUKUTENDA
(M.H.)
Ekidd.: Tereza tukutenda nga tussizza kimu
Mu byonna bye waweebwa ku nsi ne mu ggulu.
255
N‟obulamu wabumuwa Kristu
Wamwagala nnyo Yezu Tumwagale
Wamwemaliza Omukama Tumwagala
Ffe abaana bo tutuuno Tusabire
Situlina buwonero Tusabire
Twagaze nnyo Yezu
Tuleme okugudduka Omusaalaba
Tufube okutuuka Gy‟oli
Mu ggulu ew‟Omukama Twesiime twesiime twesiime naawe.
256
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐎𝐁𝐔𝐍𝐍𝐀𝐃𝐃𝐈𝐈𝐍𝐈
366. AGGYA MU KISA KYE N’ALONDA
(Fr. Expedito Magembe)
257
1. Tutendereze ekitiibwa kya Katonda n‟erinnya lye - n‟erinnya lye
Tutendereze ekitiibwa kya Katonda n‟amaanyi ge - n‟amaanyi ge
Atuwunda n‟obusaserdooti obw‟Omwana we - obw‟Omwana we
Atulyowa n‟obusaserdooti obw‟Omwana we.
B
a) Amakungula mangi naye abakunguzi tewali
Tiwali tiwali tiwali bakunguzi, abakozi tiwali mu makungula.
b) Ennimiro nnene naye amakungula mazibu
Mazibu mazibu mazibu amakungula, abakozi tiwali mu makungula.
c) Endiga ddala nnyingi naye abasumba tibamala
Tibamala tibamala tibamala abasumba, abakozi tiwali mu makungula.
d) Omulimu munene abakozi tibamala
Tibamala tibamala tibamala abakunguzi, abakozi tiwali mu makungula.
258
Atuwe abakozi AWEEREZE ABAKOZI MU NNIMIRO
Mukama ........................... ATUWE ABAKOZI ABANAAMALA
Asindike abakozi
Mukama ” “
Tumusabe omuyinza
Mukama ” “
Tumusabe oyo
Mukama ” “
Tumweyune oyo
Mukama ” “
Oyo atuyamba
Mukama ” “
Oyo atulunda
Mukama ” “
259
Ye bwe busika.......................... bwe tulonze
Ebyaffe .................................... biri mu Ye
Eminyololo gigudde ku ddyo, gigudde ku ddyo, gitugudde walungi,
gitugudde ku ddyo. x2
260
i. Buli eyeevamu n‟amugoberera alimuwa - empeera
ii. Buli eyeeresa ebyensi eno alimuwa - empeera
iii. Buli alireka n‟abazadde alimuwa - empeera
iv. Buli alireka n‟emikwano alimuwa - empeera
v. Buli alireka n‟abaana alimuwa - empeera.
370. ENNIMIRO
(Fr. Expedito Magembe)
261
2. Kristu anoonya, abuuza, aluwa anaamuyamba
Mu nnimiro ................................. Nze nnaatuma ani?
Abuuza ....................................... Nze nnaatuma ani?
Omukama abuuza .................. ... Anaatuma ani?
262
371. FFE ABAALEKA BYONNA
(Ponsiano Ssali)
263
3. Nze Omukama nkutuma genda,
Ng‟obabuulira yogeza maanyi,
Oli Mulanzi ow‟amawanga gonna,
Gaabuluze ogazimbe ogazze buto gansobedde,
Gaabuluze ogazimbe ogazze buto.
264
374. KATONDA Y’ALONDA
(Fr. Expedito Magembe)
1. Naye atubuuza obanga tukkiriza - ddala ddala era atubuuza tawaliriza n‟omu
Tawaliriza ...................... Tawaliriza n‟omu. // x2
Nze nnaatuma ani, nze nnaatuma ani, nze nnaatuma ani, abeere omubaka wange? Nze
nnaatuma ani, nze nnaatuma ani, mbuuza abange, nze nnaatuma ani?
265
4. Mwoyo ow‟amaanyi nze gwe nkuwa, era n‟omukono gwange nga
gukugumya
Genda okulembere abantu bange.
266
375. MUNAAYITIBWANGA
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Munaayitibwanga Basaserdooti luse lulondobe,
Eggwanga lya Katonda, abantu ba Katonda n’obwebange
Ab’obwebange, ab’obwebange, ab’obwebange
Bantu ba Katonda ab’obwebange.
Mwagattibwa ne Kristu Omusaserdooti,
Ne musiigibwa ne Chrisma n’abajjula,
Mwoyo wa Katonda n’abatukuza,
Muli basaserdooti, ggwanga nnamukisa, ery’abalondemu.
267
3. Wampa mu mutima gwange omuliro ogwaka ekitalo,
Okwagala okwo kumpujja, nsaba okukuumenga.
268
Emirembe n‟emirembe nga tuyimba - Amiina
Tulisanyuka nnyo ,,
Nga tuwangudde ,,
Tuliyimba nnyo ,,
Nga tuwangudde ,,
Tulibeera eri ,,
Nga tuwangudde ,,
Tulisanyuka nnyo ,,
Tulitenngeenya ,,
269
A Tuwera kimu ffe okwagala n‟obuzira Mukama waffe oyo gwe tumanyi.
Tuwera kimu ffe okuwondera n‟obuzira Kristu eyatuganza tubeere babe.
Tuwera kimu ffe kumalirira titukyaddirira, emirembe n‟emirembe tuli
babe - Mikwano gye.
270
379. NKUYITA MWANA WANGE
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Nkuyita Mwana (muwala) wange weeveemu ojje onsenge
Nze Mukama Katonda wo akuyita nkulonzeemu
Tunda byonna, leeta byonna, vva mu byonna,
Osange byonna onoobula ki? Nze nsibuko ya byonna
//Mpa omutima gwo mwana (muwala) wange nkwegombye
Mpa obulamu bwo mwana (muwala) wange olibusanga.// x2
271
1. Genda eri gye nkutuma - Genda nze nkutumye:
Nange nnaakuyamba buli wantu.
3. Nga ndi musiru nze nga ndi muto! Nga ndi munaku nze nga ndi munafu.
272
3. Weebaze leero x3 Mukama Katonda nze nkuyita leero.
4. a) Ojja kuva mu bantu bo, ojja kuva mu bantu bo beera muzira.
273
Munaababuulira okukwata bye nngamba.
Mubatukuzanga masakramentu gonna nga mugabawa
Mubaweerezenga timwebalira mukolenga kye njagala
Mweveemu mbayise, mweveemu mbayise mweveemu mbayise leero x2
mwenna.
Ffe ggwanga lya Katonda .............. Ffe ggwanga lya Katonda eddonde.
Tuli bantu ba Katonda .................. Abantu ba Katonda ab‟obwebange.
Ffe ggwanga lya Katonda ............Ffe ggwanga lya Katonda eddonde.
Tuli luse lulondobe eggwanga lye ddala.
274
385. TUMAZE EBBANGA
(Fr. Expedito Magembe)
Tumaze emyaka, (ebbanga) Tumaze
Nga tuli wamu naawe Naawe Katonda
Ffe bimuli bya Roza by‟olina, tukuume tunyweze mu mukwano gwo Mukama.
Ffe bimuli bya Roza by‟olina, tuyambe endagaano tuginyweze Mukama.
Ffe bimuli bya Roza by‟olina
Ffe ttawaaza z‟okoleeza okwakira abantu
Bakulabe, bakumanye, bakwagale, babeere babo.
275
386. SINGA OMUKAMA TIYALI NAFFE
(Fr. Expedito Magembe)
276
KYE NVA NTENDA: KATONDA OLI EYANNGANZA
ASAANA KUTENDWA KATONDA OLI NNANTALEMWA. x2
277
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀 𝐁𝐀𝐓𝐈𝐒𝐌𝐔
387. ABABATIZE
(Ben K. Jjuuko)
Ekidd.: Ababatize mujje tujaguze
Ababatize mujje tuyimbe
Twazaalwa mu Batismu
Ne tuyingira mu kika,
Twazaalwa mu Batismu
Ne tufuuka baana ba Katonda.
278
2. Ggwe mwana wange, nze gwe nnonze nkubatizza,
Ggwe mwana wange, nze gwe nzadde gwe mmanyi x2
Oli muggya, kati oli mwana ansanyusa, kati oli mu nze, nze Katonda x2
Anti nkulonze ku lwaleero, lwa kukwagala kwe nnina.
279
390. KUUMA EBISUUBIZO
(Fr. Expedito Magembe)
391. MU BATISMU
(Fr. Expedito Magembe)
280
2. Oyo anvaako afuuka mukalu be nngwa, yenna n‟akala n‟aggwaawo
Aba ng‟ettabi lye batemye, lye batemye ku muti bwe likala ne liggwaawo
Alikwata ebigambo byange n‟abinyweza, aliba mu nze, ne mmubaamu.
Ne mmubaamu, ne mmubaamu, ne mmubaamu, ne mmubaamu
Ne mmubaamu, ne mmubaamu, ne mmubaamu, ne mmubaamu
Ne mmubaamu, ne mmubaamu, ne mmubaamu.
281
3. Tukwanjulira Ddunda eggwanga lyo lino egganzi,
Wabalondamu Ddunda babeere kimu.
Bamulamusizza Kristu ono Omwana wo.
Ekigambo kyo Taata bakikkirizza.
Banyweze mu mukwano gwo Ddunda ne mu kukkiriza
Babeere bajulirwa bo mu nsi muno, emirembe.
282
394. NAABAYIWAKO AMAZZI
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
283
Soprano: Bass:
1. Mu Ye ku bbatirizo Twabbulwa, twabbulwa
Ekiremba ekyeru ekyankwasibwa ,,
Nkituuse ew‟Oyo azaala Mwana ,,
Mwoyo Mutuukirivu Omukubagiza ,,
Nnyamba ettaala gye nnakwasibwa ,,
Ereme okuzikira ngituuse ng‟eyaka ,,
Batismu ebe nnywevu. ,,
284
Sop & Alto: Abatwalibwa Mwoyo, abatwalibwa Mwoyo,
Be baana ba Katonda, naffe twafuna ku Mwoyo omu
ow'abalondemu
Kristu twamutwala n‟olukoba, ye muggulanda ffe baganda be
Oba nno tuli baana, tuli basika ne Kristu,
Tuli basika ba Ggulu.
Tuli baana, tuli basika .................
285
398. WANNONDA DDUNDA
(Fr. James Kabuye)
286
399. YEE TUSANYUKE NGA TUYIMBA
(Fr. James Kabuye)
2. Oh! Kitalo nnyo ffe abantu obuntu okufuuka tuti eggwanga lya Katonda.
Mu Batismu Kristu yatusonyiwa, Mwoyo n‟atujjamu, Kitaffe n‟atuganza.
3. Oh! Kitalo nnyo ffe abantu obuntu okufuuka tuti abaganzi ba Katonda
Mu Batismu Kristu yatuwa enngoma, Mutukuvu n‟atubbula,
Kitaffe ye muzadde.
4. Oh! Kitalo nnyo ffe abantu obuntu, okufuuka tuti ennyumba ya Katonda;
Mu Batismu Kristu ffe tumwambala, Mwoyo Mutukuvu atusulamu
Kitaffe wa buyinza.
287
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐎𝐁𝐔𝐅𝐔𝐌𝐁𝐎
400. AYAGALA OBUFUMBO
(Fr. James Kabuye)
288
402. BULI KITONDE N’AKITONDA
KINNABABIRYE
(Alphonse Ssebunnya)
289
5. Tukuza endagaano 7. Yozefu ne Maria
Ze bakuba bombi Tubabakwasizza
Babeerenga babiri Mubasabe bulijjo
Okuva olwaleero. Mu nnaku n’essanyu
290
405. KATONDA OYO OWA YIBRAIMU
JJAJJAFFE
(Fr. James Kabuye)
1. Katonda oyo owa Yibraimu jjajjaffe Mwembi abagatte wamu
2. Katonda oyo eyakola obufumbo ,, ,,
3. Katonda oyo ayagala obutuufu ,, ,,
4. Mmwe abalangasa ,, ,,
Mmwe abavubuka ,, ,,
Ng‟abasaasira ,, ,,
5. Gye munaalaganga yonna abeere nammwe Mmwe ababadde
abalangasa n‟abasaasira
6. Mu buvubuka obwo, yonna abeere nammwe ,, ,,
7. Nga muli balwadde, yonna abeere nammwe ,, ,,
8. Nga muli bulungi, yonna abeere nammwe ,, ,,
9. Mu bizibu ebingi, yonna abeere nammwe ,, ,,
10. Mmwe nga mumutenda, yonna abeere nammwe ,, ,,
291
407. MU MASOOKA G’ENSI
(Fr. James Kabuye)
1. Mu masooka g‟ensi - Mu masooka g‟ensi
Mu masooka g‟ensi - ,, ,,
Omutonzi w‟ensi n‟agamba bw‟ati omusajja:
Ssi kirungi - ssi kirungi x2
Ssi kirungi omuntu okubeera obw‟omu:// x2
SSI KIRUNGI N‟AKAMU.
Tumukolere omubeezi we, tumukolere amufaanana omubeezi we.
292
408. MUGENDE MIREMBE
(Fr. James Kabuye)
293
410. MUKAZI WO ABEERENGA
NG’OMUZABBIBU
(Fr. James Kabuye)
294
412. NYWEZA OBUFUMBO BWAFFE
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
Nyweza obufumbo bwaffe Mukama omuzirakisa.
Tobwabuliranga Mukama omuzirakisa.
Tuwe emikisa gyo Mukama omuzirakisa.
Twagalane bulungi Mukama omuzirakisa.
Mu maaso go tulagaana Mukama tuwerekere
Okubeeragana Mukama tuwerekere
Ffembi tusse kimu Mukama tuwerekere
Nga tugumira n‟ebizibu Mukama tuwerekere
Tuleme kwawukana Mukama tuwerekere
Mukama tukwekwasizza Mukama tuwerekere.
413. OBUFUMBO
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
Ekidd.: Obufumbo bwava wa Katonda Kitaffe
Obufumbo bugatta ababiri abaagalana
Ddala ddala - Nga Kristu bw’ali n’Eklezia
Era tebagenda kugattululwa.
295
414. OBUFUMBO KWAGALANA
(Ben K. Jjuuko)
296
4. Abafumbo abeesigwa 5. Yozefu, Ggwe bba Maria
Nga beewaayo bulala Wolereza abafumbo,
Okukuza abaana baabwe Obajune ng’obakuuma
Yozefu obayambe. Bayambenga bulijjo.
297
2. Ayi Mukama Mukama waffe abawere n‟abayonka
Leero bagenda okuziyiza omulabe omuzigu,
Mu kamwa kaabwe mwe wategeka
Ettendo ly‟obalumbisa.
298
2. Twewuunya nnyo entereeza yo Mukama ennungi ey‟ekitalo,
Ggwe wagatta Adamu n‟Eva babeere wamu mu bufumbo
Twaniriza entereeza yo Mukama egatta naffe mu kwagala.
Ky'okakasa, kiba kituufu,
Ky‟osalawo, kya mirembe gyonna.
Ggwe okakasizza, obufumbo bwaffe,
Ky‟okakasa, kya mirembe gyonna
N‟endagaano yaffe eno tuyambe ebeere ya mirembe.
299
419. YEZU MARIA YOZEFU
(W.F.)
Ekidd.: Yezu, Maria, Yozefu
Amaka gaffe mugakuumenga.
1. Mugakuumenga mu kwagalana;
Tuyambagane buli lunaku,
Tubeere ffembi, n‟omwoyo gumu,
N‟emmeeme emu okutuusa okufa.
2. Mugakuumenga mu butukuvu
Ennyumba zaffe zibeere nnungi;
Tuziyizeemu byonna eby‟ensonyi,
N‟abantu ababi n‟abagwenyufu.
3. Mugakuumenga mu buwulize
Bassemaka abo babe n‟ekisa;
Nga balagira abakyala baabwe,
Bateese kimu okufuga abaana.
4. Mugakuumenga ne mu buzadde,
Tusobolenga Omulimo gwaffe;
Ogw’okukuza abwaana bwonna,
Netubufuunira bukristu ddala.
6. Mugakuumenga ne mu bukadde;
Ne mu kaseera ak’okufa kwaffe;
Yezu, Maria, naawe Yozefu,
Timutuvaako, tujje mu ggulu.
300
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀𝐁𝐀𝐉𝐔𝐋𝐈𝐙𝐈
420. ABAJULIZI
(Sr. Peter)
1. Abakungu bangi, abawanngamye, ku Nnamulondo ez‟ettendo, mu ggulu,
Ekidd.: Abatendereza Ddunda Katonda.
(Tutti)
4. Ffe batusingira abaana n‟abakulu, n‟eggwanga lya Uganda, mulirunngamye:
Ekidd.: Abatendereza Ddunda Katonda ........
301
421. ABAJULIZI AB’ETTENDO
(Fr. James Kabuye)
302
2. Mu kkomera mu ttambiro, 5. Tufunye mu ggulu leero,
Mu bulumi obutagambwa! Abatuwolereza bangi,
Obuzira bwa kitalo! Be tunaalabirangako
Nga timuta kwegayirira; Tulyoke tusinge sitaani
Ne musabira Uganda Okutuusa lwe tulifa,
Yonna esenge Katonda. Ne tugenda ewa Katonda.
423. ABAVUBUKA
(Joseph Kyagambiddwa)
5. Ba Kiwanuka, Balikuddembe;
Ba Ssebuggwaawo, ko Sserunkuuma oli;
Ba Baanabakintu, Nngondwe, Buuza,
Ba Mbaaga ne Ludigo ko ne Gyaviira ye.
303
7. Otuyambeko, Yezu Katonda,
Ffe tukusaba nneema gye twetaaga
Ey‟obuzira Abajulizi eyo
Gye baafuna eyasukka naffe ogitujjuze.
Bass Soprano
Ekidd.: Abazira be ndayira bannamige abo ... Abaaluwangula
Ffe be tutenda abo baalulwana Abaaluwangula olutalo
Baalumala amaanyi Baalulwana baalulinnyako:
Ne balulinnyako
Abajulizi Abaluwangula
Abajulizi Bannauganda Abaaluwangula
Sitaani baamumegga Sitaani baamumegga
Baamulinnyako Baamulinnyako
Amazima ne bagalaga ensi eno Amazima ne bagalaga ensi eno.
304
4. Nga tuli nammwe abatakabanyi mu kitiibwa eyo
Awamu ne Yezu eyabalagayo Ffenna
Eri ne Kitaffe Ffenna
Mu ggulu ddala eyo ewaffe etemagana Ffenna
Tube mu kitiibwa Ffe, baabo.
Gye tulyesiima ewaffe eri Lugaba.
305
426. B’ASIIMA B’AGEZA
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Aboluganda, aboluganda, aboluganda,
Bwe mufuna ebizibu ebitali bimu, mugambanga nti:
Twesiimye nnyo twagalwa nnyo, Mukama atusiimye
Anti b’asiima anti b’asiima b’ageza.
Tumanyi kimu nti ekizibu ky’okukkiriza, kibaviiramu
kugumiikiriza.
Olwo ne mufuuka abantu abakuze, abajjuvu abatalina
kibabula,
Kibabula, abajjuvu, zaabu atukuziddwa mu kabiga
amasamasa.
306
Laba amawanga gonna bwe gali eri bwe gali eri, laba amawanga
gonna bwe gali eri
Buli luse, buli ggwanga, buli muntu buli muntu, laba amawanga
gonna bwe gali eri
Beebo Abajulizi era abayimba abayimba, beebo Abajulizi era
abayimba.
2. Bambadde byeru, beesibye ebimyu ebyo, bamuli mu maaso Omukama
Bambadde ebyeru banyumye nkugambye, bakute n‟ensaansa ez‟obuwanguzi.
307
428. KAROLI LWANGA
(Joseph Kyagambiddwa)
Tenor Leader:
Ekidd.:
(A)Leaders: Chorus:
Kizito omuto oyo wange Kizito omusomi
Mwana w‟embuga gwe mbiita Kizito omusomi
Kizito omwagalwa omuganzi asiimwa Kizito omusomi
Nkugumya ennaku gwe nsuuta Kizito omusomi
Omwana w‟abakungu atalabwa Kizito omusomi
Atunula ng‟amata obuta olw‟enneema Kizito omusomi
Nkuuma ekkula lya Katonda zzaabu Kizito omusomi
Nkuuma emisana n‟ettumbi Kizito omusomi
308
(B) Ekidd.: Bwe tulittibwa naawe ffembi olw’okuba eddiini
Nze ndikugumya gy’ogenda tolindeka.
Bwe balinjokya ne nfa nze ndijaguza owange,
Nze ndiwondera, ne ngwa ggwe eri gy’oligwa. (B x2)
(C) Kizito onnumya omwoyo, mazima totya, ewa Yezu laba nnyini ffe
Anti gye tulamaga. (C x2)
(D) Zannya, zannya, omwana wa Yezu zannya,
Zannya, nnyo omulenzi wa Yezu omwana,
Jaagaana omulongo w‟olukoba owange,
Jaagaana omulongo w‟olukoba ow‟edda. (D x2)
309
3. Nnyini mikisa gyonna, 9. Katonda gwe mwesiga,
Katonda, yabeegombya Amanyi g y’abawa;
Eddiini ey‟amazima; Ge gabakkirizisa
Mmwe yasooka okulonda. Ne kye mutalabanga
Mu nsi Uganda. Mu nsi Uganda.
310
431. MBUUZA ABAJULIZI
(Fr. James Kabuye)
Tutti: Tuli bagumu nga Yezu ali naffe x2 okuyokebwa, okuttwa twabinyooma
n‟obulamu bw‟ensi obuyita twabuwaayo Mwana wa Katonda Yezu ng‟atuyamba.
311
432. MU BE BAGUMU
(Fr. Expedito Magembe)
4. Laba mbagamba nti: mbagamba: Bali bwe batta tibatta mwoyo, mube bagumu
Laba mbagamba nti: mbagamba: Tibalina buyinza bwa kutta mwoyo timubatya
Laba ali omu ati: Katonda y‟alina obuyinza, Mukama yekka mumutye nnyo.
312
433. MU GGULU SSANYU JJEREERE
(Ben K. Jjuuko)
313
2. Twali mu nvuba ez‟amaanyi, baageza byonna okutubonyaabonya,
Twali basibe ffe Yezu, okutuusa n‟okuyokebwa.
314
436. MULUKULIKE OLUTALO
(Joseph Kyagambiddwa)
Mulukulike olutalo mululwanye Mulukulike olutalo mululwanye
Mulukulike okuluwangula Mukulike okuluwangula
Tubaaniriza abawanguzi mmwe Tubaaniriza abawanguzi
Wano we wammwe! Mmwe muyingire abazira!
Leka mbateeke engule amatendo
Nze ku mitwe gyammwe x2
Laba mbawadde ebirungi
Buli kimu kyonna
Eeeeeeeeee....................
Mutangalijja
Mumyansamyansa
Nnyini abalungi
Nnyini abasajja
Nnyini abalenzi
Muzaawuse
Yee.
315
2. Bwe mwegaana sitaani omuzigu
Mwewaayo okufiirira amazima
Gwe mwasenga Kristu abamala
Ka tusabe naffe obuzira.
316
7. Baganda baffe Abajulizi,
Tunyiikire okubeeyuna;
Be baganzi b‟Omulokozi
Tubasabenga okutujuna.
Bass: Munywere x2
Munywere Sop: Munywere abaana abavubuka Katonda ageza.
Ageza x4 (a) Mukulike omukka - mukulike obulumi
Katonda ageza (b) Mukulike ebbabe - mukulike effumu
317
Sop: Kati nno, kaakati mutudde ntende Bass: Mbatenda
Mu ssanyu mutudde ntende - ewaffe.
b) Kaakati muli mu ddembe - mbatenda
Ennaku ziwedde amangu - kafuuwe.
440. NOA
(Fr. James Kabuye)
318
4. Wasomesa ogw‟obulonde mu Kiyinda
Kye mwakola, Matia ne Luka kyatutumbula
Ne wasituka abasomi bangi mu Mityana.
Nga basoma emisana n‟ekiro mu Kirumba.
441. OLWATUUKA
(Joseph Kyagambiddwa)
319
442. SITAANI NG’EMPIIGA EMUYINZE
(M.H.)
320
2. Omulimo gwe baakola abo gwali munene
N‟ebirungi bye baatuwa wamma byali bikulu
Okukkiriza kwe baatuwa abo baatema kkubo
Ffe- abakkiriza mu Kristu wamma tuli mu ddene
Baatuwa Mukama Yezu ne tumatira
Tunyiikire okutuusa byonna by‟atulagira
Ekigambo kya Mukama Yezu basiga ensigo
Esaasaane Uganda yonna ebeere mu ssanyu (Ababaka ...)
TUMALIRIRE:
Tweweeyo tweveemu - tweweeyo okuwondera Abazira
Tweweeyo tweveemu mu kyasa ekiggya kye tulimu.
321
444. TWEWUUNYA OBUZIRA BWO
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Twewuunya obuzira bwo ggwe ataatya kuyokebwa,
Omuto ddala weewaayo okubeera Yezu,
Ayi Kizito omwesiimi Luwangula,
Ggwe tufunire eri Yezu Omukama Katonda,
Enneema ey’obuwanguzi. x2
322
7. Omuzadde wo oyo ng‟alira amasajja,
Yakukangamu ggwe omwana,
Naawe n‟omugamba, ssebo nze nkugaanye,
Nja kufa ku lwange,
Ffe tugenda waffe mu ggulu.
323
446. YOZEFU MUKASA
(Joseph Kyagambiddwa)
Soprano
Abakulembera:
Abakulembera:
324
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀𝐁𝐄𝐏𝐈𝐒𝐊𝐎𝐎𝐏𝐈
447. ABEEREWO ALUNDE ABANTU BO
(Fr. James Kabuye )
2. Kristu - Ye Musumba
Paapa - Ye musigire akumaakuma obuliga.
325
3. Mukama kuuma - Paapa waffe
Kuuma - Paapa waffe
Awangaale ng‟alamula - Eklezia abeere omu. x2
4. Paapa - Mukuume
Paapa - Muyambe
Paapa - Munyweze Paapa waffe.
Omukuume, omuyambe
Lugaba Ddunda Nnantalemwa.
Omukuume, omuyambe
Paapa waffe omukuume
Ddala omukuume, omuyambe Paapa waffe.
326
2. Ffe mubiri ogwa Kristu, ggwe mugabe ayunga b‟oyise,
Tukwanirizza, tukukkirizza, Ssebo mutwe gwaffe,
Tukwanirizza, tukukkirizza, Ddunda akukuumenga.
Ggwe kabonero akalabika, nti Kristu Omusumba, ali naffe.
452. TWANIRIZE
(Ben K. Jjuuko)
Ekidd. I: Twanirize, twanirize, Twanirize, twanirize.
327
3. Kubanga Omusumba waffe wuuno
Atuuse Omusika wa Kristu Omukama
Kikuuno Omusumba w‟endiga wuuno
Ffe endiga zo Tukwagala nnyo ggwe Kitaffe.
3. Ye ggwe eyalayira,
Ng‟omuwa omuggo azimbe Essaza,
Ng‟alunda abantu bo
Endagaano yo temenyeka,
Gy‟okuba enywera ddala
Yamba gw‟osiimye, Kitaffe ono,
B‟afuga tunywere ffe.
328
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐀𝐌𝐀𝐙𝐈𝐈𝐊𝐀
454. BAKWANIRIZE
(Fr. James Kabuye)
329
456. BAMALAYIKA BAKWANIRIZE
(Ben Jjuuko)
330
5. Yeruzalemu omugenzi gy‟ogenda,
Kye kibuga gy‟oba mu ddembe wamma.
331
5. Byonna by‟okunngaanya ku nsi,
Mugagga, biriba bya ki?
Ku ebyo bye wesiimamu
Tojja kusigaza kantu.
332
2. Ensinda gye gisindamu, 4. Essaala yo gy’onoosoma,
Ku nsi tesangika; Y’eneegyanguyiza;
N‟enkaaba gye gikaabamu Essanyu eritakoma
Nayo tegambika. Lye tugisaanyiza.
5. Katonda yamba abaana bo,
Ababonaabona;
Era tuma ababaka bo
Babawonye bonna.
333
3. Ku olwo yampisa mu bukubo, obugolokofu obutuusa amangu,
Olw‟okubeera erinnya lye ekkulu eryo, eritukuvu.
334
4. Yee bwe tulituuka tulisangayo Mukama n‟atuweera.
Yee bwe tulituuka tulisanyuka nnyo, kubanga tuliba babe.
Yee ffe abaamusenga, tuliba babe, Mukama n‟atuweera.
Yee alitugamba, mmwe abannywererako, mujje eno ne mbaweera,
Yee alitusiima nti mwalumwa nnyo, kyokka ne muguma nnyo,
Mmwe abantu bange, njagala mbawe ku byange eby‟obusika.
335
466. MU NFUUFU MW’OLIDDA
(Ben K. Jjuuko)
4. By‟okunngaanya owoluganda,
Obirekerera n‟ogenda
Ogenda wekka aa! Obireka byonna aa!
Okusuubira kwaffe kwe kuzuukira ffenna,
Kristu eyezuukiza yekka, naffe alituzuukiza.
467. MUTUSAASIRE
(W.F.)
336
2. Era kye tulaba muno, 4. Obanga mutulowooza,
Ekitusasuza ebbanja, Mmwe mwenna baganda baffe
Gwe muliro ogutwokya ennyo Mutusabire mu Missa,
Awatali kuwummula. Omukama atuwonye.
5. Abekisa mutuyambe
Nga muwaayo essaala zammwe;
Tukaaba mutusabire,
Mutuwonye ennaku zaffe.
337
469. NZIKIRIZA NGA NDIRABA
(Fr. Expedito Magembe)
Ekidd.: Nzikiriza, nzikiriza nga ndiraba ebirungi by’Omukama
Mu nsi eyo, mu nsi eyo ey’obulamu.
338
471. OBUYINZA BWA MUKAMA
(Fr. Expedito Magembe)
Obuyinza bwa Mukama bwa kitalo, obuyinza bwa Mukama bwa nsusso,
Obuyinza bwa Mukama mu ffe, bwa kitalo nnyo.
Bass: Tuli bibya bya bbumba ebyatika, mwe tutwalira ekkula ly‟Obutume
Sop: Kkula ly‟Obutume litwalirwa mu bibya, kubanga tuli bibya bya
bbumba ebyatika.
Bass: Tuli bibya bya bbumba ebyatika, mwe tutwalira ekkula ly‟Obutume
Sop: Ekkula ly‟Obutume litwalirwa mu bibya, kw‟olabira obuyinza bwa Mukama
Bass: Obuyinza bwa Mukama bwa kitalo, obuyinza bwa Mukama bwa
nsusso. x5
Sop:
1. Ennaku zitudaaza buli wantu, naye tezitugonza.
2. Tubulwa gye tuva ne gye tulaga, naye tetwabulirwa
3. Tufuna oluusi ebituyuuya, naye tebitumegga.
4. Tufaanana okukenena ne tuggwaawo.
5. Ennaku ezitukaabya ez‟oku nsi, nazo ziriggwaawo.
Tuli bibya bya bbumba ebyatika, mwe tutwalira ekkula ly‟Obutume.
Tumanyi bulungi ffe, kino ekisulo kyaffe eky‟oku nsi bwe kyabizibwa,
Waliddawo ekyo eky‟olubeerera, a a a a.
Tumanyi bulungi nnyo, buno obulamu bwaffe obw‟oku nsi bwe buggwaawo,
Tulifunayo obwo obw‟olubeerera, a a a a.
339
472. TITULABANGA
(Fr. Expedito Magembe)
473. TULIZUUKIRA
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Tulizuukira, ffenna tulizuukira
Tulizuukira ffe mu kitiibwa kya Yezu
Ku lw’oluvannyuma, kw’olwo. x2
340
2. Ng‟omukama bwe yayogera, nga ye w‟obuyinza obungi;
Naffe twesiga, era tukakasa,
Ffenna abamumanyi, ng‟alituzuukiza!
341
475. WA GYE NDISANGA YANTONDA?
(Joseph Kyagambiddwa)
1. Wa gye ndisanga eyantoda? Mm x2
Anandaga ekkubo ani? Laba gye tugenda x2
342
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐍𝐃𝐀𝐋𝐀 𝐙𝐎𝐍𝐍𝐀
476. ABAANA TWEGIRIISA DDA
(MH)
1. Abaana twegiriisa dda 2. Mukyagikuuma kwenkana,
Tuyimba leero kwebaza; Tezaama mu batendekwa;
Bassenkulu abasaale Bakyagikwasa ennganda ze,
Mmwe mutwesunyaako; Zikogera kigambo ffe.
Tutwoggye. Kabona wakutendekwa, Ye mwatuwoomya: twaka nnyo;
Mutuufu wa balungiya; Tutinsa ttendo, mpaawo kko;
Mmwe b‟omu nnyumba beene, Bye mwatuyiira bingi nsi
Abamutwala embeera ye. Musiimwa emmeeme enngunjuzi.
343
478. AMATENDO G’ABATUUKIRIVU
(Fr. James Kabuye)
Ayi Mukama tusaasire Ayi Mukama tusaasire
Ayi Kristu tusaasire Ayi Kristu tusaasire
Ayi Mukama tusaasire Ayi Mukama tusaasire
344
Ffe aboonoonyi Tukusaba tuwulire
Klezia wo Omutukuvu, kkiriza omulambike n‟okumukuuma, “
Paapa na bonna abali mu madaala g‟Eklezia,
banyweze mu ddiini obakuume Tukusaba tuwulire
Amawanga gonna gawe eddembe n‟okussa ekimu ,,
Naffe ffennyini tunyweze mu kukuweereza otukuumiremu. ,,
Bano b‟olonze bawe omukisa ,,
Bano b‟olonze bawe omukisa, obatukuze .... ,,
Bano b‟olonze bawe omukisa, obatukuze, obafuule babo ,,
Yezu Omwana wa Katonda omulamu ,,
Ayi Kristu tuwulirize Ayi Kristu tuwulire.
345
481. AYI OMUTIMA GWA NNYAFFE
(Fr. Expedito Magembe)
Ekidd.: Ayi Omutima gwa Nnyaffe Maria Omuddaabiriza, nzuuno
nkwekwasizza.
Ayi Omutima gwa Nnyaffe Maria Omuddaabiriza, nzuuno
nkwewadde.
I. Njagala mu Ggwe mwe mba mbeera nga ndi wamu naawe, ntuuse bye
nsuubiza,
Batismu yange gye nziramu mu mutima gwo, Mmange nnyamba edde buto.
Okwagala mu Ggwe kwe nnoonya mu mutima gwo, Mmange nnyamba
nkutuukeko,
Omulimu gw‟Obutume gwe nnoonya mu mutima gwo, Mmange nnyamba
ng‟onkwatirako.
Omulimu gw‟okuddaabiriza gwe nneetemye, Mmange nnyambanga
Onkwatireko.
II.
a. Ekitambiro ky‟obulamu bwange mu Ggwe mwe mba nkituukiriza ku lwa bannange,
nange Omukama asiime.
Obulamu bwange “ “
Maama mbukuwadde “ “
Byonna ebyo byange “ “
Maama mbikuwadde “ “
Okulokoka okwange “ “
Maama nkukukwasa “ “
346
Mu kutegana okwange Mbikkirira n‟omunagiro gw‟obulamu
Mu bunaku obwange Mbikkirira n‟obuzadde bw‟onninako
Onnyambe Maria ,, ,,
Ontuuse gy‟Ali ,, ,,
Omulokozi Yezu ,, ,,
Ontuuse gy‟Ali ,, ,,
347
4. Weesige Katonda, ekkubo lye likwate,
Alikusenvuza n‟olya ensi. x2
348
485. EKLEZIA
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
349
486. ESSAAWA ENTUKUVU
(W.F.)
350
5. Mu nkulungo - nsi fuga: 6. Yezu Mwana munnaffe,
Gwe Kitaffe, omuyozi Ggwe Mulokozi w’abawunja;
Atutwala n‟ekisa; Eka, tulumbwa ywesase;
Mu kibiina Ggwe ye mboozi Ggwe muganzi, ffe wagunja,
Ggwe kkula lye beebaza, Otuwe ku ntambula,
Ggwe kigo kye beesiga. Twezire ebya swakaba.
7. Naawe Mwoyo muzza - nsa:
Ffe wasiiga ku Katonda,
Otuwomye empeereza,
Ne tuteeganya kugonda,
Wonna twetaleetale;
Lunnabe gumweyiwe.
351
11.Okutwalibwa kwe mu ggulu okw‟ekitiibwa, kugulumizibwe,
kugulumizibwe.
352
6. Olw‟okusaasira okunene Katonda kw‟alina,
Waggulu eyo aliggyayo enjuba atulambule,
Amulise abatudde mu kizikiza,
Alambike ebigere mu kkubo eddamu ery‟eddembe.
353
7. Ne bamuzingira amaggwa: 8. Omulokozi wa bonna
Ye ngule ya Kabaka; Yeetikka omusalaba
Baagimusimba mu kyenyi, N’atuuka ku kalvario
N‟atiiriika omusaayi. N’agugalamirako
Ffe ababi nga titufaayo Baamukomerere enninga
Kulowooza mu mwoyo Ebigere n’engalo
Omukama bwe yalumwa Baamufumita omutima
Ng‟atwagalira ddala. Mwe mutuviira enneema.
9. Omutonzi n‟alabika
Mu kaseera ak‟okufa,
Ensi yonna n‟ekankana,
Enjazi ne zaatika.
Omulokozi bwe yafa,
Byonna, byonna byakaaba.
Naffe nno, tubonerere,
Olwaleero twenenye.
354
4. Leka obunafu, fuba naawe, ebyensi eno bikulimba nnyo,
Nyweza eddiini olyooke otawuke
Leka obunafu mu ddiini, ebyensi eno olibituusa wa?
Nyweza eddiini olyooke olokoke
Oligamba otya ng‟Omukama ng‟akugobye n‟akwegaana,
Nti watawuka n‟okamala.
Luliba lumu atuyita nti: Mujje eno mmwe abaanfaako,
Mu baganda bange ababonaabona ne twesiima.
355
4. Mu budde obw‟emisana Katonda alaga okwagala kwe okw‟enjawulo,
Nnaamuyimbira ekiro ne ntenda oyo Katonda ow‟obulamu bwange.
356
495. MU LINNYA LYA TAATA
(Joseph Kyagambiddwa)
357
3. Mmwe nno mikwano gyaffe emyesigwa
Mu ssanyu lyammwe erijjuvu:
Musaasire ffe ababawondera,
Ffe abantu abonoonefu.
Musaasire ffe ababawondera,
Musabire ffe abakyalinda
Mu zzaayiro ery‟okusinda:
Tutuuke mu ggulu lyammwe
Ewa Katonda omwagale.
358
499. NDI MUKRISTU
(W.F.)
359
501. KATONDA KUUMA PAAPA
(Fr. James Kabuye)
360
5. Okutta togezanga 8. Mu byonna tolimbanga,
Era tosunguwala, Naddala ng’ojulira;
Tokozesanga ttima, Togezanga kugeya,
Obeeranga n‟ekisa Oba kuwaayiriza.
361
4. Toma, leka kukyala!
Linda, ojje olabe Omukama!
Yeerage gy‟oli ng‟azze gw‟ojula!
362
505. TULI KIMU MU KRISTU
(Fr. James Kabuye)
363
506. TWEBAZE MAPEERA
(Fr. Gerald Mukwaya)
Ekidd.: Beebale Amansi ne Mapeera
Beebale abaaleeta ekitangaala.
365
2. Munaabanga ggwanga lyange mmwe,
Bwe munaawulira nze bye mbakuutira byonna,
Mugakwate amateeka gange mmwe,
Leero muli ggwanga lye nfuga eddonde
Nze mbatwala, siribaleka, emirembe n‟emirembe.
366
6. Otusaasire ffe, Katonda gy‟ali
Era otuyambe ffenna: Byonna yabikola, ye Lugaba nnyini byo
Tukwesiga nnyo Katonda waffe. Katonda gy‟ali Ssewannaku Ddunda,
Muwamirembe.
367
̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐌𝐈𝐒𝐒𝐀
511. MISSA HOSANNA
(Ben Jos Jjuuko)
SAASIRA
Ayi Mukama - Ayi Mukama
Ayi Mukama - Ayi Mukama
Ayi Mukama - Ayi Mukama
Ayi Mukama - Tusaasire
368
Mu kitiibwa ekya Katonda Kitaffe. Amiina.
MUTUUKIRIVU
Mutuukirivu oyo Mutuukirivu
Mutuukirivu nnyo Katonda w‟amagye
Mutuukirivu oyo Mutuukirivu
Mutuukirivu nnyo Katonda w‟amagye
Ekitiibwa kyo kijjudde wonna mu ggulu ne mu nsi.
Hosanna - Hosanna
Hosanna - Hosanna - Hosanna waggulu eyo
Hosanna - Hosanna - Hosanna waggulu eyo.
AKALIGA
A-a-a-a-Akaliga - A- a--Akaliga
A-a-a-a-Akaliga - A --------- Akaliga
A-a-a-a-Akaliga.
Ggwe aggyawo ebibi by‟ensi tuasasire.
// Ggwe Akaliga - Ggwe Akaliga
Ggwe Akaliga - Ggwe Akaliga
Ggwe aggyawo ebibi by‟ensi tusaasire //
Ggwe aggyawo ebibi by‟ensi - tuwe emirembe.
369
EKITIIBWA
Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda
MUTUUKIRIVU
Mutuukirivu, Mutuukirivu, Mutuukirivu
Omukama Katonda w'amagye.
370
AKALIGA
Akaliga ka Katonda Ggwe aggyawo
ebibi by‟ensi tusaasire
Akaliga ka Katonda Ggwe aggyawo
ebibi by‟ensi, tusaasire
Akaliga ka Katonda Ggwe aggyawo
ebibi by‟ensi, tuwe emirembe.
371
6. Ggwe atudde ku gwa ddyo ogwa Kitaffe (gwa Kitaffe)
Ggwe atudde ku gwa ddyo ogwa Kitaffe, Kristu tusaasire.
- Mukama waffe -
372
MUTUUKIRIVU
Soprano: Mutuukirivu - (Mutuukirivu) – Mutuukirivu
Mutuukirivu waggulu eyo (oyo)
Mukama Katonda w‟amagye.
Ekitiibwa kyo kijjudde eggulu n‟ensi
Ddunda Hosanna - (Hosanna)
Ddunda Hosanna - (Hosanna)
Ddunda Hosanna, Hosanna Hosanna Hosanna waggulu eyo
Oyo ajja, n‟ekitiibwa mu linnya ly‟Omukama atuuka,
Atenderezebwenga n‟amaanyi,
Atenderezebwenga emirembe (Ddunda Hosanna).
AKALIGA
(a) Ayi Ggwe Akaliga Ggwe Akaliga
Ayi Ggwe Akaliga Ggwe Akaliga
Akaggyawo ebibi by‟ensi Tusaasire (tutti)
373
Saasira, Kristu Omusaasizi, saasira,
Kristu Omusaasizi, saasira,
Ayi Mukama Omusaasizi, saasira.
EKITIIBWA
Akulembera: Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda.
374
Bonna: Nzikiriza nze Patri eyantonda,
Nzikiriza ne Mwana eyandokola,
Nzikiriza ne Mwoyo Mutukuvu, eyantukuza.
375
MUTUUKIRIVU
Mutuukirivu, Mutuukirivu, oyo
Mutuukirivu, Mutuukirivu, oyo,
Mutuukirivu, Mukama Katonda w‟amagye
Mutuukirivu Mukama Katonda w‟amagye Mutuukirivu.
EKITIIBWA
Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda.
376
3. Ayi Mukama Ggwe Katonda, Kabaka w‟omu ggulu Katonda Patri,
Omuyinza wa buli kantu.
5. Ayi Mukama Ggwe Katonda, Akaliga Ggwe aka Katonda, Omwana wa Patri.
7. Ggwe atudde ku gwa ddyo ogwa Patri, Ggwe atudde ku gwa ddyo tusaasire.
MUTUUKIRIVU
377
NZIKIRIZA KATONDA OMU (Kalenzi)
378
516. MISSA
(Fr. Vincent Bakkabulindi)
SAASIRA AYI MUKAMA
Saasira ayi Mukama, Saasisra Ggwe Omusaasizi,
Saasira ayi Mukama, Omusaasizi tusaasire.
Ayi Kristu Ggwe Omusaasizi, ayi Kristu Ggwe Omusaasizi,
Tukukoowoola ffe otusaasire.
Saasira ayi Mukama, tukukoowoola Mukama otusaasire,
Ggwe Omusaasizi, tukukoowoola Mukama tusaasire.
OLI MUSAASIZI
Ayi Mukama oli Musaasizi, Ffe tukakasa ng‟oli Musaasizi x2
Ayi Kristu oli Musaasizi, Ayi Kristu oli Musaasizi. x2
Ekidd. II: Ggwe aggyawo ebibi by’ensi tusaasire, Ggwe aggyawo ebibi
by’ensi wulira okuwanjaga kwaffe.
379
NZIKIRIZA KATONDA OMU
Solo: Nzikiriza Katonda Omu:
16. Patri ne Mwana ffe be tusinza, tubagulumiza kimu n‟Oyo eyayogerera mu Balanzi
(Ekidd. III)
17. Nzikiriza n‟Eklezia Omu omutukuvu, Katolika eyava mu Batume
18. Njatula Batismu emu esonyiwa ebibi, era nnindirira okuzuukira
kw‟abafu, n‟obulamu obw‟emirembe egirijja.
AMIINA.
380
MUTUUKIRIVU OMUKAMA
Mutuukirivu Omukama Katonda w‟amagye,
Mutuukirivu Omukama Katonda w‟amagye,
Mutuukirivu Omukama Katonda w‟amagye,
AKALIGA KA KATONDA
Akaliga ka Katonda Ggwe, aggyawo ebibi by‟ensi tusaasire
Akaliga ka Katonda Ggwe, aggyawo ebibi by‟ensi tusaasire
Akaliga ka Katonda Ggwe, aggyawo ebibi by‟ensi tusaasire, tusaasire
Ggwe aggyawo ebibi by‟ensi, tuwe emirembe, tuwe emirembe, tuwe
emirembe, tuwe emirembe.
381
EKITIIBWA
Ekidd.: Ekitiibwa kibe eri Kitaffe Katonda,
Ne mu nsi eno emirembe.
ALLELUIA
Ekidd.: Alleluia Alleluia Alleluia Alleluia.
382
4. Mutendereze Omukama mu nnyimba ezinyuma,
Mumutendereze asaana kwagalwa.
Mutendereze Omukama mu ddoboozi ery‟awamu,
Mumutendereze nga muli wamu.
NZIKIRIZA KATONDA
1. Nzikiriza Katonda omu Nze mmukkiriza
Taata Omukama Omuyinza Nze mmukkiriza
Eyatonda eggulu n‟ensi Nze mmukkiriza
Ebirabika n‟ebikisiddwa Nze mbikkiriza
Nzikiriza n‟Omwana we omu Omununuzi
Yezu eyatulokola ffe Omununuzi
Eyazaalibwa Maria Omubeererevu Nze mmukkiriza
Ku bwa Mwoyo Mutuukirivu Nze mmukkiriza
383
AKALIGA KA KATONDA
A.......kaliga A........kaliga A ........ kaliga
Ka Katonda tusaasire
Ggwe aggyawo ebibi by‟ensi tusaasire
Otuwe emirembe,
Otuwe emirembe, otuwe emirembe.
384
Ekidd. II: Amiina, Amiina, Amiina Amiina.
6. Wekka Ggwe Mutuukirivu Ggwe Mukama wekka
Wekka Ggwe osukkiridde Yezu Kristu.
MUTUUKIRIVU
Mutuukirivu, Omukama, Katonda w‟amagye Mutuukirivu
Ekitiibwa kyo kijjudde eggulu n‟ensi
Ekitiibwa kyo kijjudde eggulu n‟ensi; eggulu n‟ensi, eggulu n‟ensi.
HOSANNA HO–SANNA, HOSANNA HOSANNA MUKAMA. x2
Oyo ajja mu linnya ly‟Omukama oli atenderezebwe
Ajja mu linnya ly‟Omukama oli atenderezebwe.
AKALIGA KA KATONDA
Mukama: Ggwe Akaliga ka Katonda akaggyawo ebibi by‟ensi
Akaggyawo ebibi by‟ensi, akaggyawo ebibi by‟ensi. x2
Mukama: Ggwe Akaliga --- Akaliga tusaasire
Mukama: Ggwe Akaliga --- Akaliga, tuwe emirembe.
EKITIIBWA
1. Ekitiibwa tukiwe Kitaffe Katonda
Ekidd.: Tumutenderezenga, Tumwebazenga Katonda.
2. N‟emirembe ku b‟ayagadde Katonda
3. Ebyo by‟akola bya ttendo Katonda
4. Omukama Kitaffe Katonda
5. N‟Omwana omu ati gw‟azaala
385
6. Oyo Akaliga akaggyawo ebibi by‟ensi
7. Oyo omusaasizi Omukama Katonda
8. Oyo abali ekimu ne Kitaffe ne Mwoyo
9. Katonda oyo omu ati gwe tusinza
10. Ettendo n‟ekitiibwa tubiwe Ye
11. Emirembe n‟emirembe - Amiina - Amiina.
MUTUUKIRIVU
Mutuukirivu Katonda w‟amagye - Mutuukirivu Katonda w‟amagye
Mutuukirivu, Mutuukirivu Katonda w‟amagye.
Ekitiibwa kyo kijjudde eggulu n‟ensi - Mutuukirivu, Mutuukirivu
Katonda wamagye.
Ho----------sanna Ho ---------- sanna
Hosanna Hosanna
Hosanna waggulu eyo, Hosanna.
Ho----------sanna Ho ---------- sanna
Hosanna Hosanna Hosanna
Waggulu ewala eri, waggulu ewala eri, waggulu ewala eri.
Oyo ajja mu linnya ly‟Omukama atenderezebwe, atenderezebwe,
atenderezebwe. - Hosanna.
AKALIGA
Akaliga ka Katonda Ggwe, Akaliga, Ggwe, Akaliga
Akaggyawo ebibi by‟ensi - Akaliga x3
Ayi Akaliga, ayi Akaliga, otusaasire x2
Otusaasire - Akaliga, otusaasire – Akaliga
Otuwe emirembe.
NZIKIRIZA MU KATONDA
Nzikiriza --- Nze nzikiriza mu Katonda oyo nzikiriza. x2
386
Omuzadde omu owa bonna Mu Katonda oyo nzikiriza
N‟Omwana omu gw‟azaala Mu Katonda oyo nzikiriza
Katonda oyo ava mu Katonda Mu Katonda oyo nzikiriza
Tiyatondebwa era wa mirembe Mu Katonda oyo nzikiriza
Gwe yasindika okulokola abantu Mu Katonda oyo nzikiriza
Oyo Maria n‟amuzaala Mu Katonda oyo nzikiriza
Yabonaabona era n‟atufiirira Mu Katonda oyo nzikiriza
Yazuukira Kristu omuzira Mu Katonda oyo nzikiriza
Ye yanunula ensi n‟ebirimu Mu Katonda oyo nzikiriza
Atudde ku ddyo ewa Kitaawe Mu Katonda oyo nzikiriza
Alidda ate okulamula Mu Katonda oyo nzikiriza
Abafu bonna n‟abalamu Mu Katonda oyo nzikiriza
Obwakabaka obubwe bwa mirembe Mu Katonda oyo nzikiriza
Nzikiriza --- Nze nzikiriza mu Katonda oyo Nzikiriza. x2
387
GLORIA
Gloria in excelsis Deo.
Et in terra pax hominibus bonae voluntatis.
Laudamus te.
Benedicimus te. Adoramus te.
Glorificamus te.
Gratias agimus tibi propter magnam gloriam tuam.
Domine Deus, Rex caelestis.
Deus Pater omnipotens.
Domine Fili unigenite, Iesu Christe.
Domine Deus, Agnus Dei, Filius Patris.
Qui tollis peccata mundi, miserere nobis.
Qui tollis peccata mundi, suscipe deprecationem nostram.
Qui sedes ad dexteram Patris, miserere nobis.
Quoniam tu solus sanctus. Tu solus Dominus
Tu solus altissimus, Iesu Christe.
Cum Sancto Spiritu, in gloria Dei Patris. Amen.
CREDO
388
Et iterum venturus est cum gloria, iudicare vivos et mortuos:
Cuius regni non erit finis.
Et in Spiritum Sanctum, Dominum et vivificantem.
Qui ex Patre Filioque procedit;
Qui cum Patre et Filio simul adoratur,
Et conglorificatur: Qui locutus est per Prophetas.
Et unam, sanctam, catholicam, et apostolicam Ecclesiam. Confiteor unum Baptisma in
remissionem peccatorum.
Et exspecto resurrectionem mortuorum. Et vitam venturi saeculi.
Amen.
SANCTUS
AGNUS DEI
389
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐙𝐎𝐋𝐔𝐋𝐀𝐓𝐈𝐍𝐈
521. MAGNIFICAT
Magnificat *amina mea Dominum.
Et exsultavit Spiritus meus *in Deo salvatore meo.
Quia respexit humilitatem ancilæ suæ *ecce ennim ex hoc beatam me
dicent omnes generationes.
Quia fecit mihi magna qui potens est, *et sanctum nomen eius.
Et misericordia eius a progenie in progenies *timentibus eum,
Fecit potentiam brancio suo *dispesit superbos mente cordis sui.
Deposuit potentes de sede, *et exaltavit humiles.
Esurientes implevit bonis: et divites dimisit inanes.
Suscepit Israel servum suum, *recordatus misericordiæ suæ
Sicut locutus est ad patres nostros, *erga Abraham et semen eius in sæcula.
Gloria Patri, et Filio, et Spiritui Sancto.
Sicut erat in principio, et nunc, et semper, et in sæcula sæculorum.
Amen.
390
V/ Pacen de coele præstitisti eis; (T.P. Alleluia)
R/ Omne delectamentum in se habentem (T.P. Alleluia)
Cor Iesu Sacratissimum, miserere nobis!
Cor Marie Immaculatum, ora pro nobis!
Sancte Joseph, ora pro nobis!
Beati Martyres Ugandenses, orate pro nobis!
524. TE DEUM
Te Deum laudamus *Te Dominum confitemur.
Te æternum Patrem *omnis terra veneratur
Tibi omnes Angeli, *tibi cœli et universæ potestates.
Tibi Cherubim et Seraphim, *incessabili voce proclamant:
Sanctus,
Sanctus,
Sanctus *Dominus Deus Sabaoth
Pleni sunt cœli et terra *majestitis gloriæ tuæ.
Te gloriosus *Apostolorum chorus,
Te Prophetarum * laudabilis numerus.
Te Martyrum candidatus *laudat exercitus.
Te per orbem terrarum * sancta confitetur Ecclesia,
Patrem * immensæ majestatis.
Venerandum tuum verum *et unicum Filium.
Sanctum quoque *Paraclitum Spiritum.
Tu Rex gloriæ, *Christe.
Tu Patris, *sempiternus es Filius.
Tu ad liberandum suscepturus hominem, * non horruisti Virginis uterum.
Tu devicto mortis aculeo, *aperuisti credentibus regna cœlorum.
Tu ad dexteram Dei sedes, *in gloria Patris.
Judes crederis *esse venturus.
Te ergo quæsumus, tuis famulis subveni *quos pretioso sanguine redemisti.
391
Fiat misericordia tua, Domine, super nos, *quemadmodum speravimus in te.
In te, Domine, speravi: *non confundar in æternum.
Benedicam Patrem, et Filium, fum Sancto Spriritu
Laudemus, et superexaltemus cum in saecula.
Domine exaudi orationem meam.
Et clamo meus ad te veriat.
Dominus vobiscum
Et ci, spiritu tuo.
392
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝑬𝑩𝑰𝑫𝑫𝑰𝑩𝑾𝑨𝑴𝑼 𝑴𝑼 𝑴𝑰𝑺𝑺𝑨
1. Essomo bwe liggwa
Ebyo bye muwulidde bigambo bitukuvu.
R/ Katonda yeebale.
2. Okwaniriza Evanjili:
a) Omwanjuzi: “Musituke aboluganda, musituke, Kristu atuuse
atubuulire Ekigambo kye x2
Ekidd.: “Yogera Mukama wange, yogera Mukama wange,
Anti omuddu wo kati awulira ”
Alleluya x3 mu nsi n’eggulu.
b) Engeri endala: (Bakkabulindi)
3. Aaallelu, Alleluya Alleluya x2 (BASS)
Aaallelu, Alleluya, alleluya ....... Twaniriza alleluya
Ekigambo ky‟Omukama, alleluya ... Ekigambo ky‟Omukama, alleluya
Agulumizibwe Katonda .................... alleluya
Ayogerera mu Mwana we Yezu........ alleluya
Ekigambo ky‟Omukama. ..................... alleluya
Kituuse mu ffe wano leero.........Alleluya. Alleluya.
4. Konsekratio ng’ewedde
a) Ekyamagero eky’okukkiriza: (James Kabuye)
(Bonna) Tulangirira ayi Mukama, tujjukira okufa kwo n‟okuzuukira, n‟okulinnya kwo
eyo mu ggulu, okutuuka lw‟olijja.
1. Ne Kabona waffe bw‟atyo bw‟akoze, Agambye nti: “Kino gwe Mubiri gwange, Kino
Musaayi gwange”.
393
2. Twanirize era tusinze Omulokozi Yezu, Ddala ddala yenna omulamba azze ku
Altari.
5. "Kitaffe" n’essaala yaakwo w’eggweera: (embolism)
Twesanyukire ffe amangu kuba gye tugenda eri Waffe butaka, eddembe, obulamu
na byonna
Biri mu ggulu, twesiime, twesiime, twesiime, twesiime.
(Vincent Bakkabulindi)
A.....miina, Amiina....., Amiina ... , Amiina.
394
̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅̅
𝐄𝐍𝐍𝐘𝐎𝐍𝐆𝐄𝐑𝐄𝐙𝐀
1. KA TUSANYUKE FFENNA
(Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Ka tusanyuke ffenna, ka tujaguze ffenna, abaana ba Katonda
Abebonanye, wano mu Kiggwa kye.
Tuli baluganda ba nda emu, tuli baluganda Kitaffe y’omu,
Ffe tuva wamu, era tudda wamu, ekitiibwa kya Kitaffe bwe
busika bwaffe.
2. ABAAGALWA MWENNA
(Ponsiano Kayongo Biva)
1. Omukama ye wa kutendwanga.
Yee, ettendo n‟ekitiibwa tubiwenga Katonda.
Ate ani, ani amwenkana?
Anti mu linnya lye byonna bifukamira.
395
2. Wa maanyi ye wakutiibwanga.
Yee amanyi g‟alina oyo ga njawulo wamma.
Yekka omu byonna eby‟eggulu
N‟ebyo eby‟ensi, byonna ye abiwanirira.
5. Amiina Ye wakutendwanga.
Yee yekka ow‟ekitiibwa, tumutende Katonda.
Ffenna ffe abaana eb‟enngoma,
Taata atwagala ffenna alituwanguza.
3. TUSAZEEWO
(Fr. James Kabuye)
396
4. Bannauganda mujjukire okuva ku lwa Batismu, Mwoyo ffe y‟atutwala.
Y‟atujjuza ebirungi, n‟ebitone bye byonna, ye nnyini byo.
Kw‟olwo ebya sitaani twabimala, twasenga Kristu Omwana wa Katonda.
4. NZIKIRIZA
(Charles Mukasa)
1. Nzikiriza Yezu Omwana omu owa Katonda. Patri gw‟azaala ensi nga tennabaawo.
Katonda ava mu Katonda ddala; Ekitangaala nga kiva mu Kitangaala.
397
5. BYE BINO
(Fr. James Kabuye)
398
6. OGGYA KU BUGAGGA BWO
(Sr. Sarah Naamala)
Ekidd.: Oggya ku bugagga bwo Mukama wange Ggwe n’ongaggawaza.
Ebyo bye mpita ebyange byonna bibyo,
Njigiriza nange okutoola ku ebyo by’ompadde mbikuddizenga.
Njigiriza nange okutoola ku ebyo by’ompadde ngaggawaze
abalala.
7. GE GANO AMAKULA
Ekidd: Ge gano Ge tuleese
Ge gano Ge tuleese
Ge gano Amakula go Ddunda ge tuleese ge gano. (x2)
Tugaleeta gy’oli Ggwe Katonda
Nga tukwebaza Ddunda by’otuwa
Ha! Ddunda webale ogabula.
399
Bye tukuddiza Ddunda bye birabo byo bisiime.
6. Gwe tuyitamu y‟oyo Omwana wo; ffe tuli kimu n‟oyo Kristu,
Bye tuweereza Ddunda, bikusanyuse ku lw‟Oyo.
1. Laba omugaati, laba n‟evviini gye tuleese, laba n‟amakula g‟otuwadde tugaleeta.
Tobigaana, bitono nnyo, biraga Kitaffe bwe tusiima Taata by‟otuwadde, weebalege.
3. Ebintu by‟ensi, tubiwe Ddunda atwagala nnyo, tumuwe ebibala by‟atuwadde olw‟ekisa
kye. Tobigaana ...
4. Nnaakuddiza ki, ddala eky‟ebbeeyi ekikugyamu? Kino kye nsobola kye nkuwadde
onokitwala. Tobigaana ...
400
9. TUMUWA KUMWEBAZA
(M. Mulondo)
10. MUTUUKIRIVU
(J. Yiga)
401
Hosanna – aaaaaa – tukutenda, ffenna.
Oh wonna, Hosanna – (Omutiibwa) gy’oli tukutenda
Waggulu; waggulu eyo.
Tumutenda nnyo tumuwa ekitiibwa wa mukisa Oyo ajja, ajja, Ffe tumutenda nnyo
tumugulumiza nnyo Oyo ajja…
Mu linnya ly’Omukama.
402
12. KATONDA TAATA
(Fr. James Kabuye)
403