Afirika ssemazinga. Afirika lumanyiddwa nga olukalu lw'omwana w'omuddugavu. Lusangibwamu amawanga agawerera ddala 54. Ssemazinga ono wanjawulo nnyo kubanga afumbekeddemu obugagga obw'omuttaka, embeera y'obudde ennungi, abantu abalina empisa n'obuntubulamu, ebisolo eby'omunsiko n'ebinyonyi ebisinga ebitasangibwa ku ssemazinga ndala. Ku lukalu luno kwe kusangibwa omugga ogusinga obuwanvu mu nsi yonna oguyitibwa Kiyira, n'ennyanja ekwata eky'okubiri mu nsi yonna mu bwaguuga eya Nnalubaale Ssemazinga ono alina abantu ab'enjawulo, aboogera ennimi ez'enjawulo era nga balina n'obuwangwa obwenjawulo. Abafirika boogera ennimi enzaaliranwa eziwerera ddala enkumi bbiri.

Ebyafaayo bya Afirika

kyusa

Afirika eyogerwako nnyo mu byafaayo era nga amawanga naddala ag'obukiika ddyo galina ebyafaayo ebyenkukunala ebimaze emyaka egisukka mu nkumi ebbiri. Okugeza amasiro g'abassekabaka b'eMisiri abaayitibwanga ba faraawo gakyaliyo na kaakano. Omugga kiyira gumanyiddwa nnyo mu byafaayo era nga ne mu bayibuli gwogerwako. Tujjukira nti jjajjaffe Yiburayimu yawanngangukirako mu Afirika muno ate era ssemazinga ziri bbiri zokka Yezu omwana wa Katonda ze yalinnyako nga emu ku zzo ye Afirika. Anti tujjukira nti nga kabaka Kerode bwe yali ayagala okutta omwana oyo, katonda yalagira kitaawe Yozefu amuddusize e Misiri, wano mu Afirika. Ate ye kabaka omukyala eyakyalirako kabaka Solomooni naye yava ku lukalu lw'Afirika kuno. Mu nsagi zino nga wazzeewo tekinologiya ow'okunoonyereza, abakugu baazuula mu Tanzania obujulizi obukakasa okubaawo kw'abantu ku lukalu luno mu mirembe egy'edda ennyo. Era Afirika yeesinga okuba n'eddungu eddene erikira gonna munsi yonna erya Sahara. Eddungu lino olw'okuba eddene lityo, tewali yeetambaalanga kulisomoka, kubanga buli eyagezangako, yafanga nga tannatuuka gy'alaga. N'olwekyo ebitundu ebiri mu bukiika kkono bw'eddungu lino byasigala nga byeyawudde nnyo ku nsi yonna era tewali yalowooza nti eno eriyo abantu okutuusa abatambuze abeetooloola ensi bwe baazula ebitundu bino nga bayitira ku ssemayanja.